Kyaddaki ssaabaminisita wa Uganda Robinah Nabbanja ayanjulidde Palamenti Alipoota ku bantu abawejjere abakafuna ku ssente za Gavumenti mitwalo 100,000 okubayambako mu kiseera eky’omuggalo.

Ku nnaku 42 ez’omuggalo gw’okulwanyisa Covid-19 kusigaddeko ennaku 9.

Mu Palamenti akawungeezi ka leero ebadde akubirizibwa amyuka sipiika Anita Among, webwazibidde akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo nga 20, omwezi guno Ogwomusanvu, Gavumenti yabadde yakasindikira ssente abantu 413,504.

Mw’alipoota, Nabbanja agamba nti ku mannya g’abantu 501,107 abewandiisa, abantu 87,603 tebannafuna ssente ng’ebiwandiiko byabwe, tebikwatagana.

Nabbanja agamba nti ebiwandiiko byaziddwayo byalo okuddamu okubyekeneenya n’okugyamu ensobi, oluvanyuma bakubasindikira ssente.

Mu ngeri y’emu agambye Gavumenti yakasasaanya ssente Shs41,350,400,000 (Biriyoni 41 n’obukadde 350 ne mitwalo 40) era bangi ku bannayuganda bali mu ssanyu olw’okufuna ku ssente ezo.

Gavumenti okusasaanya Biriyoni 53.5 okuyamba abantu.

Abantu abaludde nga balinda ssente era Nabbanja agamba nti abantu bonna nga balina ebisanyizo, balina okufuna ku ssente.

Akakiiko ka Covid ak’eggwanga kagenda kuddamu okutuula essaawa yonna, kasalewo ku lunaku lwe bajja okukoma okusunsula amannya g’abanaafuna ssente.

Abamu ku bakozi b’emirimu abalina okufuna ku ssente za covid mulimu; abavuzi ba boda boda, abavuga takisi/bbaasi ne ba kondakita, abasomesa, abayimbi, abategesi b’ebivvulu, abasituzi b’emigugu, abakola mu ppaaka, aba saluuni n’abalala.

Abakiise ba Palamenti ku ludda oluvuganya, baggyemedde ekiragiro kya Poliisi ne Ssaabaminisita Robinah Nabbanja ku ky’okweyambisa obukiiko bwa disitulikiti obuli ku ddiimu ly’okulwanyisa Covid-19 ku nsonga y’okutwalira abantu emmere.

Nabbanja ne Poliisi bagamba nti abakulembeze okwenyigiramu mu kutwalira abantu emmere ku byalo, kiyinza okutambuza Covid-19, ekintu eky’obulabe.

Wabula akulembera oludda oluvuganya ku Palamenti Mathias Mpuuga, agamba nti abantu abali mu mbeera mbi nga betaaga emmere okutaasa obulamu.

Mpuuga alabudde Gavumenti okulaga nti efaayo ku bulamu bw’abantu era bo betegefu okusibwa, naye nga basobodde okutaasa obulamu bw’abantu abali mu kufiira mu nnyumba olw’enjala.

Mpuuga mu ngeri y’emu asabye buli muntu alina obusoobozi okuvaayo okuyamba ku bantu okusinga Ssaabaminisita Nabbanja ssaako ne Poliisi okubalemesa.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/499883351078288