Omuwendo gw’abantu abakafa mu ggwanga erya South Africa nga kivudde ku mbeera y’okwekalakaasa baweze 276.

Bannansi bekalakaasiza mu bitundu bye KwaZulu-Natal ne Gauteng nga bawakanya eky’okusiba eyali omukulembeze w’eggwanga lyabwe Jacob Zuma wakati wa 2009 – 2018.

Okusinzira ku Minisita okuva mu offiisi y’omukulembeze w’eggwanga Khumbudzo Ntshavheni, abantu 234 battiddwa mu bitundu bye KwaZulu-Natal ate 42 mu bitundu bye Gauteng.

Jacob Zuma

Mu ngeri y’emu abantu abakunukiriza mu 2,000 bebakwattiddwa nga kivudde ku maggye agasukka 25,000 okusindikibwa ku nguudo, okuyambako mu kutebenkeza embeera.

Mw’alipoota, eraga nti amadduka agasukka mu 2,000 gabbiddwa era abekalakaasi batutte ebintu eby’enjawulo omuli emmere, firiigi, Ttiivi, engoye, okumenya ATM ne batwala ssente, ssaako n’ebintu ebirala.

Wabula wadde Zuma musibe, akkiriziddwa ekitongole ky’amakkomera okwetaba mu kuziika muganda we omuto Michael, agenda okuziikibwa akawungeezi ka leero.

Wabula ekitongole ky’amakkomera kigambibwa nti omusibe yenna singa okwetaba mu kuziika, waddembe okwambala engoye zayagala era Zuma bamusuubira okuziika muganda we ng’ali masuuti.

Kkooti ya Ssemateeka ekulemberwa Omulamuzi Sisi Virginia Khampepe yasalidde Zuma okusibwa emyezi 15 ng’emulanga okuyisa olugaayu mu kakiiko akanoonyereza ku balyake mu South Africa, akakulirwa Amyuka Ssaabalamuzi Raymond Zondo nga 29, omwezi oguwedde Ogwomukaaga, 2021.

Ate mu ggwanga erya Mali, Gavumenti etandiise okunoonyereza ku bulumbaganyi obwakoleddwa ku Assimi Goita, akola ng’omukulembeze w’eggwanga lyabwe mu kiseera kino.

Omuwaabi wa Gavumenti Kariba Konate, agamba nti okunoonyereza kutandiise, okuzuula ekyavuddeko obulumbaganyi.

Golonel Goita agamba nti wadde yalumbiddwa, teyakoseddwa era yazeemu dda okutambuza emirimu gye.

Col. Goita yalumbiddwa bwe yabadde agenze okwetaba mu kusaala Eid al-Adha mu kibuga Bamako ku lunnaku Olwokubiri.

Goita

Goita yalumbiddwa abasajja babiri (2) nga bali mu ngoye ezabuliggyo era omu ku basajja yakebeddwa ng’alina ekyambe.

Goita yawamba obuyinza mu Gwokutaano, 2021 kyokka bangi ku bannansi bagamba nti wadde ali mu ntebe, tagwanidde wabula yasuubiza okuzaayo obuyinza mu bantu okulonda omukulembeze omwaka ogujja ogwa 2022.

Goita yazaalibwa mu 1983 era mu kiseera kino alina emyaka 38.