Abamu ku bakozi mu Ssaluuni, mu Kampala balangiridde okweyambula okwekalakaasa n’abaana baabwe nga bawakanya ekya Gavumenti okubaleka okufiira mu nnyumba enjala mu kiseera kino eky’okulwanyisa Covid-19 nga ali ku muggalo ogw’ennaku 42.

Bano n’okusingira ddala abakyala bagamba nti, Gavumenti yabasuubiza okubasindikira ku ssente emitwalo 100,000 okubakwasizaako mu kiseera kino eky’omuggalo, kyokka ennaku wasigadde 5 ez’omuggalo tebannafuna wadde 100.

Mungeri y’emu bagambye nti embeera ewalirizza abamu ku bakyala okwetunda, okunoonya ssente okwebezaawo kyokka n’abasajja tebalina ssente, banoonya mmere ya leero.

Abakyala bano nga basinzira ku Gaza Land mu Kampala, bagamba nti embeera mbi, y’emu ku nsonga lwaki bakeera mu Kampala okunoonya eky’okulya.

Basabye ssaabaminisita Robinah Nabbanja okuyamba wakiri okufuna eky’okulya naye embeera mbi.

Omu ku mukyala agaanye okwatuukiriza amannya ge nga mutuuze we Salaama agamba nti alina abaana 4 kyokka anoonya muguzi, ayinza okutwalako omwana we omu, okusobola okufuna ssente okulabirira abaana abalala basatu.

Omukyala agamba nti buli lunnaku, alina okutambula ku bigere okuva e Salaama okugenda mu Kampala okunoonya eky’okulya kyokka ne Poliisi esukkiridde okubakuba emiggo n’okubasindikiriza okudda awaka.

Ate omukyala omulala agamba nti ye Reste ng’ali mu gy’obukulu 27, agamba nti olw’embeera ng’alina okunoonya ssente okusasula ennyumba, okufuna eky’okulya n’okulabirira omwana we, yabadde alina okwetunda mu basajja abenjawulo okufuna akassente.

Reste agamba nti kimuluma abasajja okumukozesa olwa ssente naye talina kyakikolera kuba yetaaga ssente olw’embeera eri mu ggwanga kuba mu Kampala embeera mbi, “omusajja akuwa 10,000 nga tayagala kwambala kondomu era ndi mu kutya nti bayinza n’okuleeta obulwadde, naye singa Museveni akkirizza abantu okudda ku mirimu, sisobola kuddamu kwetunda“.

Aba ssaluuni bagamba nti bakola mmere ya leero kyokka Gavumenti ekyalemeddwa okuvaayo okubayamba nga ssente za Gavumenti wadde bewandiisa, tezinnaba kutuuka.

Wabula akawungeezi k’olunnaku Olwokusatu nga 21, Ogwomusanvu, 2021, Ssaabaminisita Nabbanja bwe yabadde mu Palamenti, yagambye nti entekateeka y’okusindikira abantu ssente, etambula bulungi ddala.

Nabbanja yagambye nti webwazibidde akawungeezi k’olunnaku Olwokubiri, nga 20, omwezi guno Ogwomusanvu,, 2021 Gavumenti yabadde yakasindikira ssente abantu 413,504.

Mw’alipoota ya Nabbanja mu Palamenti y’eggwanga, yagambye nti ku mannya g’abantu 501,107 abewandiisa, abantu 87,603 tebannafuna ssente ng’ebiwandiiko byabwe, tebikwatagana, ng’abamu bawandiisa essimu ezitali ku Mobile Money, ate abamu ndaga muntu zagwako, abalala okuwandiisa essimu mu mannya g’omuntu omulala ssaako n’ensonga endala.

Nabbanja yasuubiza nti amannya gaziddwayo ku byalo, okuddamu okwekeneenya ensobi oluvanyuma babasindikire ssente.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/337064674593901