Poliisi efulumizza alipoota ku baana abasangiddwa nga bali mu nnyumba, ku bigambibwa nti babadde begandanga n’embwa.
Abaana 14 wakati w’emyaka 4 – 19, basangiddwa nga bali mu nnyumba emu Muyenga mu Kampala.
Mu kunoonyereza, Poliisi yakutte omukyala Dorothy Ndagire myaka 27, nga mutuuze we Kawaala Central Zone, e Kasubi mu Rubaga, era yatwaliddwa ku Poliisi y’e Kabalagala, okuyambako mu kunoonyereza.
Mu kunoonyereza, Poliisi egamba nti yafunye okutegeezebwa nti abaana, baludde nga begandanga n’embwa 2 era nga basula nazo ku buliri.
Wabula alipoota ya Poliisi, eraga nti abaana abali mu mbeera nnungi ddala era ebigambibwa nti baludde nga begandanga n’embwa byabulimba.
Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano agamba nti wadde abaana bakyali mu mikono gyabwe, bagiddwako ndagabutonde okuzuula abazadde abatuufu era batwaliddwa mu kifo ekibudabuda abaana.
Mungeri y’emu agamba nti Ndagire bakyamunoonyerezako ku ngeri gye yafunamu abaana, abadde abatwala wa ssaako n’okulimba ekitongole ekya Poliisi nti aliko ekibiina ky’obwannakyewa, mwasinziira okuyamba abaana.
Owoyesigyire mu kwogerako eri bannamawulire ku kitebe kya Poliisi e Naguru agamba nti bakyanoonyereza okutuusa nga bazudde ekituufu.