Abasajja babiri (2) nga bali ku Pikipiki ekika kya Bajaj basudde ssanduuko y’omwana omuto okumpi n’eddwaaliro lye Mulago.
Abasajja, nga bonna bali mu ‘T-shirts’ enjeru ssaako ne Bulaaka n’empale eza jjiini, batuuse nga ssanduuko eteekeddwa mu kadeeya.

Amangu ddala egiddwa mu kadeeya era wakati mu kkubo.
Ssanduuko tebaddemu kintu kyonna wabula eteekeddwako ebipande okuwandikiddwa ebigambo nga basaba omuwandiisi w’enkalakkalira mu Minisitule y’ebyobulamu Dr Diana Atwine okulekulira.

Ebiwandiiko, biraga nti bangi ku bannayuganda abafudde olwa Dr. Atwine era kekadde okulekulira.

Wabula amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire agamba nti Poliisi y’e Wandegeya etandiise okunoonyereza.
Owoyesigyire agamba nti Poliisi etandiise okutegeera abasajja abasudde ssanduuko ssaako n’abantu bonna abali emabega waabwe.