Dr. Aceng avuddeyo nate!
Minisitule y’ebyobulamu etendereza ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni olw’okusindika abantu ku muggalo wakati mu kulwanyisa Covid-19.
Omuggalo ogw’ennaku 42 kusigaddeko ennaku 3 era Muzeeyi Museveni agenda kwogerako eri eggwanga ku Lwomukaaga ku ssaawa 2 ez’ekiro.
Wabula Minisita w’ebyobulamu Dr Jane Ruth Aceng, bw’abadde ayogerako eri eggwanga, Uganda wetuusemu kulwanyisa Covid-19, agambye nti omuggalo, gusobodde okuyamba okendeza abantu okulwala ssaako n’omuwendo gw’abantu abafa.
Minisita Aceng ng’asinzira ku Ttiivi y’eggwanga eya UBC, agamba nti Uganda yazuula nga abalwadde abasukka 10,000 nga tebannaba kusindika bantu ku muggalo wabula mu kiseera kino, olunnaku bali 100.
Minisita mu ngeri y’emu agamba nti newankubadde abalwadde bayongedde okendera, abasawo balabudde nti ‘Wave’ ey’okubiri ekyaliwo mu ggwanga.
Minisita era agamba nti Gavumenti erina ekirubirirwa okugema abantu obukadde 22 kyokka mu kiseera kino abantu 232,743 bebagemeddwa.
Wabula abasuubuzi mu Kampala bagamba nti embeera mbi era Pulezidenti Museveni ayambe abakkirize okudda ku mirimu.
Ate Poliisi y’e Luweero ekutte omusawo w’ekinnansi Abbas Ssenyonga amanyikiddwa nga Muzuuzi ku misango gy’okufera abantu.
Muzuuzi akwattiddwa n’omuyambi we abadde amuyambako mu kutambuza emirimu Alex Kirumira amanyikiddwa nga Kyegegwa era batwaliddwa ku kitebe kya Poliisi e Luweero.
Bano okukwatibwa, kidiridde okufera omukyala Brenda Nanyojo omutuuze we Kawula mu ggoombolola y’e Butuntumula ssente 2,400,000 nga basuubiza, okumufuula omukyala omugagga.

Nanyojo agamba nti yasabiddwa okuleeta ssente okuzikubisaamu.
Agamba nti yawadde Muzuuzi ssente zonna 2,400,000 nga amusuubiza okuzozaamu afune ssente obukadde 50,000,000.
Nanyojo wakati mu kulukusa amaziga, agamba nti yawereddwa akabookisi, mwagenda okuggya ssente ze, nga wayiseeko ennaku.
Ekyamuggye enviri ku mutwe, yagenze okubikula akabookisi nga temuli wadde 100 ate nga ssente ezimu yabadde yewoze newole.
Amangu ddala yadduukidde ku Poliisi y’e Luweero okuyambibwa
Okusinzira ku Kansala we Kakabala Salim Zimula, waliwo Laadiyo eri mu kitundu kyabwe, Muzuuzi gy’abadde asukkiridde okweyambisa okuwudiisa abantu nga bw’agaba obugagga.
Ate akola ng’aduumira Poliisi y’e Luweero Patrick Maikula, alabudde abatuuze okomya okulowooza okufuna obugagga obwamangu.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/337064674593901