Poliisi ekutte abantu (3) ku misango gy’omwana eyabiddwa mu disitulikiti y’e Lyantonde.
Omwana Elisa Wasike myezi 3 yabiddwa awaka w’abazadde be ku kyalo Kaliiro Ward B mu Tawuni Kanso y’e Lyantonde, akawungeezi k’olunnaku Olwomukaaga nga 24, Ogwomusanvu, 2021.
Kigambibwa omwana yabiddwa neyiba ategerekeseeko erya Nayebare, abadde yakasenga ku kyalo.
Maama Annet Nakawuka agamba nti omwana, yabadde akaaba nnyo ate ng’aliko emirimu gye yabadde akola, Nayebare kwe kumusaba omwana okumusitulirako.
Maama agamba nti oluvanyuma lw’okufundikira emirimu, yanoonyeza Nayebare, okuyoonsa omwana, nga yagenze dda.
Wabula akola ng’addumira Poliisi mu disitulikiti y’e Lyantonde Kereni Namara, awanjagidde abatuuze okuyambagana okunoonya omwana.
Namara agamba nti omwana akyali muto era wonna waali, alina okuba ng’akaaba, singa bayambagana, kisoboka bulungi okumuzuula.
Mungeri y’emu agambye nti abakwate, mikwano gy’omukyala Nayebare eyatutte omwana, era bakwattiddwa okuyambako Poliisi mu kunoonyereza.
Poliisi egamba nti abakwate basobodde okuyamba okuwa Poliisi ebimu kwebyo ebikwata ku mukyala Nayebare.
Ate Poliisi y’e Luweero ekutte omusawo w’ekinnansi Abbas Ssenyonga amanyikiddwa nga Muzuuzi ku misango gy’okufera abantu.
Muzuuzi akwattiddwa n’omuyambi we abadde amuyambako mu kutambuza emirimu Alex Kirumira amanyikiddwa nga Kyegegwa era batwaliddwa ku kitebe kya Poliisi e Luweero.
Bano okukwatibwa, kidiridde okufera omukyala Brenda Nanyojo omutuuze we Kawula mu ggoombolola y’e Butuntumula ssente 2,400,000 nga basuubiza, okumufuula omukyala omugagga.
Nanyojo agamba nti yasabiddwa okuleeta ssente okuzikubisaamu.
Agamba nti yawadde Muzuuzi ssente zonna 2,400,000 nga amusuubiza okuzozaamu afune ssente obukadde 50,000,000.
Nanyojo wakati mu kulukusa amaziga, agamba nti yawereddwa akabookisi, mwagenda okuggya ssente ze, nga wayiseeko ennaku.
Ekyamuggye enviri ku mutwe, yagenze okubikula akabookisi nga temuli wadde 100 ate nga ssente ezimu yabadde yewoze newole.
Amangu ddala yadduukidde ku Poliisi y’e Luweero okuyambibwa
Okusinzira ku Kansala we Kakabala Salim Zimula, waliwo Laadiyo eri mu kitundu kyabwe, Muzuuzi gy’abadde asukkiridde okweyambisa okuwudiisa abantu nga bw’agaba obugagga.
Ate akola ng’aduumira Poliisi y’e Luweero Patrick Maikula, alabudde abatuuze okomya okulowooza okufuna obugagga obwamangu.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/337064674593901