Jjajja myaka 55 mu disitulikiti y’e Otuke asindikiddwa ku limanda ku misango gy’okusobya ku muzzukkulu we kyokka oluvanyuma yazuuliddwa nga yafunye obuluto.
Vito Ogwang, nga mutuuze we Tetugu mu muluka gwe Oluro mu ggoombolola y’e Ogor mu disitulikiti y’e Otuke asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi ow’eddaala erisooka Otuke, Irene Aber, ku misango gy’okusobya ku muntu.
Omukwate mu kkooti takkiriziddwa kwogera kigambo kyonna kuba ali ku misango gya naggomola.
Omulamuzi Aber asindise Ogwang mu kkomera lya Gavumenti Otuke okutuusa nga 28, Ogwomunaana, 2021.
Okusinzira ku ludda oluwaabi, omuzukkulu ku myaka 15 ng’ali mu kibiina kyakusatu (P3) nga mu kiseera kino alina olubuto lwa myezi esatu (3) yasobodde okutegeeza omukulu w’ekika ssaako n’abakulembeze ku kyalo nti jjajjaawe abadde amusobyako okuva mu Janwali, 2021 buli jjajja mukyala lw’agenda mu katale nga n’oluusi amutwala mu kinaabiro.
John Bosco Opido, amyuka ssentebe w’ekyalo Tetugo agamba nti olw’okukuuma eddembe ly’omwana, babadde balina okutegeeza ku Poliisi.
Agamba nti Ogwang akkiriza okusobya ku mwana era ku kyalo yakakiddwa okusasula ente 5, embuzzi ssaako n’essente 50,000 okuggyawo ekisiraani mu famire.
Jjajja mukyala Selina Akello agamba nti bba okusobya ku muzukkulu, agwanidde okusibwa era kati awulira bulungi kuba kati ali mu kkomera.
Ate entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Lusaana mu ggoombolola y’e Bulera mu disitulikiti y’e Mityana, ssemaka Joseph Kakiire ali mu gy’obukulu 70 bw’asse mukyala we Namuddu Rose ali mu gy’obukulu 60 enkya ya leero.
Omusajja akubye omukyala omusekuzo ku mutwe era abatuuze bagenze okutuuka nga z’embuyaga ezikunta.
Kigambibwa omukyala okulemesa omusajja okutunda ebintu by’awaka ate nga baludde nga balina obutakaanya, kyongedde okusajjula embeera.
Wadde enju ebadde ya takka, omulambo gusangiddwa okumpi n’omulyango.
Abatuuze nga bakulembeddwamu ssentebe Ssalongo Lawrencia basigadde bali mu kiyongobero era bavumiridde eky’okutwalira amateeka mu ngalo.
Ate Kansala we Kibogo mu ggoombolola y’e Bulera, Katwere Moses awanjagidde abatuuze okweyambisa abakulembeze singa bafuna obutakaanya okusinga okwetta.
Omulambo gutwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mityana okwekebejjebwa nga Poliisi bwenoonya ssemaka, aliira ku nsiko mu kiseera kino.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/337064674593901