Omusajja mu disitulikiti y’e Kikuube attiddwa mu bukambwe bw’abadde agezaako okulemesa muto we myaka 16 okufumbirwa.

Bruno Tumwejukye myaka 35 nga mutuuze we Kiyembe, mu ggoombolola y’e Kabwoya yattiddwa.

Kigambibwa muto we yabula awaka sabiiti ewedde kyokka oluvanyuma famire yafunye amawulire nti omuwala agenda kufumbira omusajja omukulu eyategerekeseeko erya Peter ku kyalo ekiddako.

Tumwejukye yalumbye amaka ga Peter akawungeezi k’olunnaku Olwokutaano nga 30, July, 2021 nga mukambwe, kwe kulagira muganda we okudda awaka mu bwangu.

Omusajja Peter yavudde mu mbeera olwa Tumwejukye okumulemesa omukyala era amangu ddala yakutte enkumbi era yakubye Tumwejukye ku mutwe nafiirawo.

John Mary Tibabyenda, ssentebe w’ekyalo agamba nti Tumwejukye yakubye omulanga kyokka abatuuze webatuukidde okutaasa embeera ng’amaze okufa nga n’omulambo guli mu kitaba kya musaayi.

Ssentebe Tibabyenda agamba nti olw’okutya, amangu ddala Poliisi y’e Kikuube yayitiddwa.

Julius Hakiza, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Albertine agamba nti omusajja Peter yadduse oluvanyuma lw’okutta Tumwejukye era mu kiseera kino aliira ku nsiko. Agamba nti Peter aguddwako emisango gy’okutta omuntu era omuyiggo gugenda mu maaso.

Hakiza agamba nti omulambo gukwasiddwa aba famire okuziikibwa oluvanyuma lw’okwekebejjebwa mu ddwaaliro ekkulu e Kikuube.

Ate omusajja agambibwa okuba omubbi akubiddwa essassi era asigadde ali mu mbeera mbi e Gulu bw’abadde agezaako okubba ebintu mu mmotoka.

Omusajja akubiddwa ye Mathewn Odong era yasangiddwa ng’agezaako okumenya emmotoka okubba ebintu ku Green Park Hostel mu ggoombolola y’e Pece-Laroo.

Odong yakubiddwa essassi omukuumi Patrick Kidega okuva mu kitongole ki Exposs Security Group.

Essassi essassi lyamukutte ku kabina era yatwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Gulu okufuna obujanjabi wakati mu byokwerinda.

David Ongom Mudong, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Aswa agamba nti Poliisi esobodde okwekebejja ekifo era omukuumi Kidega agiddwako sitetimenti nga Poliisi bw’enoonyereza.

Mudong agamba nti omukwate wakutwalibwa mu kkooti ku misango gy’obubbi era fayiro y’omusango esindikiddwa eri omuwaabi wa Gavumenti.

Mungeri y’emu alabudde abatuuze okukomya okwenyigira mu kubba kuba ebitongole ebikuuma ddembe byongedde okwetekateeka.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/4368884189844506