Wuuno omukyala ebintu bimutabukidde oluvanyuma lw’okufuna olubuto mu mulamu we (muto wa muganda we).
Omukyala asobodde okweyambisa omukutu ogwa WhatsApp okutegeeza muganzi we Peter nti yafunye olubuto.
Wabula ekyembi, abadde agezaako okutegeeza Peter nti yafunye olubuto kyokka obubaka bugenze wa bba Mark.
Mu kusooka, omusajja alaze nti abadde musanyufu nnyo kuba naye abadde alindiridde okufuuka taata kyokka avudde mu mbeera, bw’akitegedde nti mukyala we abadde ali mu laavu ne muganda we.
Wabula n’omukyala wadde ali lubuto, alaga nti asobeddwa kuba naye asobodde okutegeeza Peter omusiguze nti naye asobeddwa era ali mu kutya.

Alaga nti abadde ayenda ku bba n’okwenda ku booluganda kyokka wadde mu kiseera kino ali lubuto era agamba nti olubuto lwa Peter, alina okubusabuusa ku muntu omutuufu, nannyini lubuto.
Mu nsi y’omukwano, waliwo ebintu bingi nnyo ebiyinza okuvaako abaagalana okwenda, ekiyinza okuvaako amaka okusanawo.
Okusinzira ku Ssenga Kawomera, omukugu mu nsonga z’omukwano era omunoonyereza, agamba nti essanyu mu maka, kintu kikulu nnyo era singa omukyala oba omusajja alemwa okuwa munne essanyu, omukwano guyinza okusanawo mu bwangu ddala.
Ssenga Kawomera agamba nti omusajja era omukyala yetaaga eddembe lye wadde ali mu laavu, okwagala omuntu, tekitegeeza kumugyako ddembe lye.
Mungeri y’emu agamba nti omusajja okulemwa okumatiza kabiite we mu nsonga z’omu kisenge, kiyinza okuvaako okwenda ku muntu yenna. Omukyala okwenda ku mulamu we, kiraga nti bba yabadde alemeddwa okuwa mukyala we essannyu mu kisenge.
Ssenga Kawomera era agamba nti obukyafu buyinza okuviirako omukyala oba omusajja okwenda. Awadde abantu abafumbo amagenzi, okweyonja kuba teri musajja yenna ayinza kuguminkiriza mukyala nga mukyafu era n’omukyala ayinza okunoonya omusajja omulala obwa bba okuba omukyafu.
Waliwo embala y’omuntu. Ssenga Kawomera agamba nti waliwo omuntu nga ye mu mbala mwenzi era singa omukyala oba omusajja afuna omuntu nga mwenzi, alina okwenda wadde buli kimu kitambula bulungi.
Wabula Ssenga Kawomera agamba nti abakyala balina okuba abaguminkiriza ennyo kuba obwenzi, buyinza okuviirako ettemu nga si kirungi okwagala abooluganda kuba kiyinza n’okutabula famire.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=0rnkDOvciWg