Abantu basatu (3), basimatuse okufiira mu kabenje e Maya mu disitulikiti y’e Wakiso ku lwe Masaka ku ssaawa nga 2:30am ez’okumakya.
Okusinzira ku Poliisi, abasimatuse okufa kuliko eyali bba wa Rema Namakula, Edrisah Musuuza amanyikiddwa ng’omuyimbi Eddy Kenzo ne banne babiri (2) era batwaliddwa mu kalwaliro ka Omega medical centre e Nakirebe mu disitulikiti y’e Mpigi, okufuna obujanjabi obusokerwako.
Kenzo ne banne, babadde mu mmotoka namba UBH 367X era kigambibwa mu lukubakuba olukedde okutonyerera, ekkubo libadde liseerera nnyo ate nga bali ku misinde.

Ddereeva emmotoka emulemeredde, n’ekyuka emirundi egiwera era bwetyo ebasudde mu luwoonko okumpi ne Stabex petrol station mu katawuni k’e Maya.
Kenzo asobodde okweyambisa omukutu ogwa ‘Face Book’ era agambye nti ye ne banne bavuddemu nga tebakoseddwa nnyo, “We got an accident earlier today but we thank God for the protection we are all okay”.
Wabula amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire agamba nti emmotoka egiddwawo era etwaliddwa mu Poliisi e Nsangi.
Mungeri y’emu agamba nti Poliisi e Nsangi, etandiise okunoonyereza okuzuula ekituufu ekivuddeko akabenje.
Abatuuze basobodde okuyamba Kenzo ne banne kuba emmotoka ebadde esemberedde okukwata omuliro.
Wabula wadde Kenzo ali mu ddwaaliro, Rema ayongedde okulaga nti yakoowa.
Rema mu biseera ng’ali mu laavu ne Kenzo, yazaala omwana omu era mu kiseera kino ali n’omwana mu bufumbo bwa Dr. Hamzah Ssebunya.
Kigambibwa Rema ali lubuto lwa Dr. Hamzah era mu kiseera kino era teyetaaga situleesi.
Rema ali mu ssanyu ne bba Dr. Hamzah era balowooza ku ngeri yakutambuza amaka nga tewali kubatataaganya.
Rema wadde y’omu ku bayimbi abakyala abasiinga abagoberezi abangi ku mikutu migatta bantu omuli Face Book ne Instagram, akyagaanye okuvaayo okusaasira Kenzo okusimatuka akabenje.
Ebiriwo biraga nti Rema yasalawo okwesonyiwa ensonga zonna ezikwata ku Kenzo mu bulamu bwe wadde yamuzaalamu omwana era kiraga nti amuwadde ‘Signal’ y’obukoowu.
kyokka waliwo ebigambibwa nti yakubidde abamu ku mikwano gya Kenzo mu ddwaaliro, okumanya embeera gyalimu.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/4368884189844506