Ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) kikutte abantu basatu (3) ku misango gy’okuwamba omwana omulenzi myaka 4 ne basaba ssente obukadde 50.

Abakwatiddwa kuliko Katongole Hakim, Mawanda James ne Asiimwe Ana Maria nga bonna batuuze ku kyalo kye Busabala Cell B mu bitundu bye Makindye Ssabagabo mu disitulikiti y’e Wakiso.

Amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, nga 2, Ogwomunaana, 2021, Katongole ne banne benyigira mu kuwamba omwana Ssenyonjo Simon okuva ku bazadde be Namaganda Juliet ne Mudima Kityo, abatuuze b’e Wamala cell mu Tawuni Kanso y’e Nansana mu disitulikiti y’e Wakiso.

Owoyesigyire agamba nti abazadde, baabadde basindikidde abawambi ssente 1,000,000 nga bakyabanjibwa obukadde 49.

Poliisi egamba nti ezudde Pikipiki eyakozesebwa okutambuza omwana bwe yali awambiddwa namba UFH 412D okuva e Nansana okumutwala e Busabala.

Enkya ya leero ku kitebe kya Poliisi mu Kampala (CPS) omwana Ssenyonjo bakwasiza abazadde wakati mu ssanyu.

Ate Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Kiremera mu ggoombolola y’e Makulubita mu disitulikiti y’e Luweero, omutuuze bw’attiddwa, abatemu abatamanyiddwa.

Emmanuel Mayungwe ali mu gy’obukulu 60 attiddwa, ekirese abatuuze nga bali mu kiyongobero.

Omulambo gwe, gusangiddwa mu kitaba ky’omusaayi nga yatemeddwa ku mutwe, emikono, omugongo ssaako n’emikono.

Wabula abatuuze nga bakulembeddwamu Eria Kivumbi, agamba nti Mayungwe abadde muntu w’abantu okuttibwa, kabonero akalaga nti bonna batambulira mu kutya.

Ate Isah Ssemwogerere, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Savannah agamba nti abasirikale okuva e Bombo basobodde okutwala omulambo mu ddwaaliro ekkulu e Mulago okwekebejjebwa.

Ssemwogerere agamba nti okunoonyereza kulaga nti Mayungwe yatemeddwa nga beyambisa ejjambiya wabula agumizza abatuuze okusigala nga bakakamu.

Mayungwe ye muntu owokubiri okuttibwa mu sabiiti eno. Ku Mmande nga 2, omwezi guno Ogwomunaana, ku ssaawa nga 8 ez’emisana, Andrew Katumba eyali avuga bodaboda ku siteegi y’o Kayembe mu zzooni y’e Wampamba mu Tawuni Kanso e Wobulenzi, yakubiddwa ennyondo ku mutwe ne bamusala obulago ku kyalo Naseeta, omutemu bwe yefudde omusabaze okumutwala mu disitulikiti y’e Nakaseke.

Oluvanyuma lw’okutta Katumba, Pikipiki ye namba UFB 701D abatemu bagitwala.

Bya Nalule Aminah