Minisita w’ebyensimbi n’okuteekeratekera eggwanga lino Matia Kasaija abotodde ekyama nti offiisi ye, terina wadde 100 kyegenda kuwa bannanyini masomero ag’obwananyini, abali mu kulajjana nti Bbanka zitwala amassomero gaabwe olw’okulemwa okuzaayo ensimbi ezibanjibwa, zebewola mu kiseera ng’abaana bakyasoma.

Bannanyini massomero, bagamba nti olwa Gavumenti okuggala amassomero wakati mu kulwanyisa Covid-19, Bbanka zeyongedde okubanja era essaawa yonna amassomero gaabwe gayinza okutwalibwa.

Minisita Kasaija bw’abadde alabiseeko mu kakiiko ka Palamenti akalondoola eby’obusuubuzi, agambye nti Gavumenti, terina nsimbi, okutaasa bannanyini massomero, okusasula looni zaabwe eziri mu Bbanka ez’enjawulo.

Mu kakiiko akakubirizibwa, omubaka w’ekibuga Mbarara Mwine Mpaka, Minisita Kasaija ku myaka gye 77 ng’omusajja omukulu, awadde amagezi bannanyini massomero okuteesa ne bbanka ezabawola ensimbi nga zitegeera embeera egenda mu maaso mu ggwanga ate bwe kiba kigaanye, buli omu atunde ku bikalu ku by’obugagga bye, okuzaayo ebbanja, okusinga okaabira Gavumenti.

Minisita agamba nti buli muntu alina okweteteenkanya okuzaayo ssente zeyewola, Gavumenti terina ssente zakubayamba.

Minisita Kasaija mu ngeri y’emu awadde abasuubuzi amagezi abali mu kulajjana nga banoonya ssente okuddamu okuyimusa emirimu gyabwe, egikoseddwa wakati mu kulwanyisa Covid-19.

Minisita Kasaija agamba nti Gavumenti yateekewo dda ssente eziri mu Biriyoni 200, mu bibiina by’obwegasi, abasuubuzi gye bayinza okuddukira okwewola, okuddamu okutambuza emirimu gyabwe.

Kasaija agamba nti Gavumenti yakola omulimu gwaayo okuyamba abantu abali mu mbeera mbi nga bali mu bwetaavu, okubasindikira ssente 100,000 nga bali ku muggalo era kati bali mu kulondoola ku bantu abafuna ku ssente ezo oba ddala bazifuna.

Gavumenti egamba nti yasobodde okuwa abantu abasukka 500,000 ssente 100,000 okufuna eky’okulya mu kiseera nga bali ku muggalo.

Okusinzira ku Ssaabaminisita Robinah Nabbanja, wadde Uganda erina abantu bangi abali mu bwetaavu, Gavumenti yabadde erina okuyamba abantu bokka abakoseddwa olw’omuggalo gwa covid-19.

Abamu ku bantu abaafunye ku ssente, mwe muli ba DJ, abakozi mu Saluuni, bbaala, Baddereeva ba Takisi, abatembeyi, aba bodaboda n’abantu abalala abakola emmere ya leero.