Bannakibiina ki Forum for democratic change (FDC) bawadde Gavumenti yakuno amagezi, okwawula Minisitule y’ebyenjigiriza ku by’emizannyo, kiyambeko Minisitule zombi okutambula obulungi.
Mu kwogerako eri bannamawulire ku kitebe kya FDC e Najjanankumbi, amyuka omwogezi w’ekibiina John Kikonyogo, agamba nti Gavumenti okwawula ebyenjigiriza ku byemizannyo, kigenda kuyamba nnyo okulaga nti efaayo nnyo mu kutumbula talenti n’okuwagira ebitone.
Mungeri y’emu agamba nti Minisitule y’ebyenjigiriza okutambulira awamu n’emizannyo, kivuddeko abantu okwenyigira mu kubba ettaka ly’ebisaawe, okulemwa okuvumbula talenti ne Gavumenti okulemwa okubiteekamu ensimbi.
FDC okuvaayo nga Uganda yamalidde mu kyakubiri mu Africa ku nsi ezakoze obulungi mu Olympic eyabadde mu kibuga Tokyo mu ggwanga erya Japan.
Uganda yawangudde emidaali 4, emidaali 2 gya zzaabu, ate Kenya yawangudde emidaali 10 era mu Africa yakutte kisooka.
Mu nsi yonna, Uganda yamalidde 47 ate Kenya yakutte 25.
FDC egamba nti singa Gavumenti eyongera okuteeka ssente mu byemizannyo, kigenda kuyamba nnyo okulongoosa ekifaananyi ky’eggwanga, okutunda eggwanga, okusikiriza abalambuzi okusinga okuteeka ssente mu Ttiivi z’ebweru, okutunda eggwanga.
Ate mu ggwanga Zimbabwe, abamu ku bakulembeze nga begatiddwako ebitongole ebirondoola eddembe ly’abaana, bakangudde ku ddoboozi ku mwana eyafudde bwe yabadde agenze okuzaala.
Omwana Memory Machaya ali mu gy’obukulu 14 nga mutuuze mu bitundu bye Marage, wakati mu kulwanyisa Covid-19, abazadde bamuggya mu ssomero era yafuna omusajja eyamuwasa.
Omwezi oguwedde Ogwomusanvu, bwe yabadde agenze okuzaala mu ssabo, teyasobodde kusimattuka yafudde.
Kati no, ebitongole ebirondoola eddembe ly’abaana biremeddeko, bisabye abazadde b’omwana okubanoonya bakwattibwe.
Omwana yafa 15, Ogwomusanvu kyokka omwana gwe yali azadde, abasawo bagamba nti ali mu mbeera nungi ddala.
Wabula n’ekitongole ky’amawanga amagate, kirabudde Gavumenti mu ggwanga erya Zimbabwe, okwongera amaanyi ku nsonga z’abaana okutangira abaana abato okubafumbiza ssaako n’okufuna embuto.
Mu ggwanga erya Zimbabwe okusinzira ku sseemateeka, omuntu yenna okufumbirwa ateekeddwa okuba waggulu w’amyake 18 kyokka okwegatta kukkirizibwa ku myaka 16.
Wadde bangi ku baana bafunye embutto mu kiseera kino eky’okulwanyisa Covid-19, abakulembeze bagamba nti kino kye kiseera, okunoonya abasajja bonna abasobeza ku baana abato, okulamulwa amateeka.
Ate Gavumenti mu ggwanga erya Nigeria erangiridde nti abasawo bonna, abaayimiriza emirimu gyabwe ne bateeka wansi ebikola sabiiti ewedde tebagenda kufuna musaala omwezi guno.
Abasawo bayimiriza emirimu gyabwe nga bagamba nti bakooye ejjoogo lya Gavumenti, okulemwa okukola ku nsonga zaabwe omuli okubongeza omusaala n’okulemwa okubawa ebikozesebwa nga bali ku mirimu.
Wabula Minisita w’emirimu n’abakozi Chris Ngige, atabukidde abasawo okuzanyira ku bulamu bw’abantu.
Minisita agamba nti kiswaza abasawo okuweebwa omusaala ate nga batadde wansi ebikolwa, wakati mu kulwanyisa ‘Wave’ ey’okusatu eya Covid-19.
Agamba nti bonna, tebagenda kufuna wadde 100.