Omukyala attiddwa olw’okulemesa bba okufuna omukisa ogwokubiri.

Ekitongole ekikuuma ddembe ekya Poliisi mu bitundu bye Bibiani mu ggwanga erya Ghana eri mu kunoonya omusajja ku misango gy’okutta mukyala we.

Omusajja Emmanuel Okyere yanoonyezebwa ku by’okutta kabiite we Joyce Johnes Afi Jassika myaka 26.

Kigambibwa wadde omusajja abadde yakawasa omukyala, babadde balina obutakaanya ng’embeera yasajjuse oluvanyuma lw’omukyala okusanga bba, ng’ali kunywegera omu ku bawala abaali baganzi be.

Omusajja yafukamidde okwetonda n’okusaba omukyala okumusonyiwa wabula omukyala yalemeddeko era yasibye ebintu bye, kwe kuddayo eri abazadde.

Omusajja yeyongedde okutambuka, kwe kulumba omukyala mu kiseera ng’abazadde batambuddemu bagenze ku mirimu era yamufumise akambe mu kifuba, olubuto emirundi 5 okutuusa lwe yafudde.

Abatuuze, webatuukidde ng’omukyala z’embuyaga ezikunta ng’omulambo gwe guli mu kitaba ky’omusaayi nga n’omusajja amaze okudduka.

Okusinzira kw’akulira Poliisi mu kitundu ekyo Seth Serwonu, omusajja aliira ku nsiko mu kiseera kino era anoonyezebwa ku misango gy’okutta omuntu.

Mungeri y’emu agamba nti omusajja okweyongera okutabuka, kyavudde ku mukyala okumutegeeza nti bagenda kwawukana mu butongole wadde abadde yakamukuba empeta.

Poliisi ewanjagidde abatuuze okuyambagana okunoonya omutemu, famire y’omukyala esobole okufuna amazima n’obwenkanya.

Ate Gavumenti mu ggwanga erya Kenya eyisiza ekiragiro buli mukozi wa Gavumenti okugemebwa Covid-19.

Gavumenti egamba nti buli mukozi alina okugemebwa mu nnaku 13 zokka oba okubonerezebwa.

Okusinzira ku kiwandiiko ekivuddeko mu minisitule y’abakozi, ekiragiro kivudde ku bakozi ba Gavumenti n’okusingira ddala abasomesa n’abasirikale mu bitongole ebikuuma ddembe okwebuzabuza ku nsonga y’okugemebwa.

Minisitule egamba nti abakozi abamu, bebuzabuza ku nsonga y’okugemebwa ne balemwa okudda ku mirimu, ekigotanyizza entambula y’emirimu mu bitongole ebyenjawulo.

Olunnaku olw’eggulo ku Mmande, Kenya yazudde abantu 745 nga balina Covid-19 ne baweza omuwendo gw’abantu 212,573 abalina Covid-19 ate yakafiisa abantu 4,179.

Sabiiti ewedde, Gavumenti yalangiridde nti erina ddoozi ezisukka 17,00,000 eza AstraZeneca era yakowodde abantu okuvaayo okugemebwa.

Kenya ekulemberwa Uhuru Kenyatta myaka 59 egamba nti etunuulidde abantu obukadde 10 abateekeddwa okugemebwa obutasukka 2021.

Ebirala ebifa mu nsi – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/4368884189844506