Maama akwattiddwa n’abaana be basatu (3) ku misango gy’okutta omulenzi ali mu gy’obukulu 17 mu disitulikiti y’e Butaleja.
Abakwate kuliko maama Namusungu Jessica 36, Paul Hitatamba myaka 25 nga muyizi wa siniya esooka ku Faith High School, Joel Makings myaka 19 ng’amuyizi ku Nabuyanja Primary School ssaako ne Francis Munghaliro myaka 15 nga bonna batuuze ku kyalo Magoje mu ggoombolola y’e Busabi mu disitulikiti y’e Butaleja.
Abakwate benyigidde mu kutta omwana Wycliffe Masinde abadde omuyizi ku Bubalya Primary School oluvanyuma lw’okumusanga ng’asobya ku baana babiri (2) abawala, nga bali mu kayumba k’essubi.
Omwana eyattiddwa yabadde ne mukwano gwe Emmanuel Manje ali mu gy’obukulu 19 omuyizi ku Magoje Primary School era ye yakubiddwa nga mu kiseera kino ali mu mbeera mbi.
Abatuuze bagamba nti olw’abaana obutasoma, okwegadanga ku myaka emito kweyongedde era bangi ku baana abawala batikiddwa embutto.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu kitundu ekyo, Moses Mugwe, okunoonyereza kulaga nti omwana yakubiddwa emiggo ku mutwe era yakaabye okutuusa lwe yafudde.
Wabula RDC we Butaleja Stanley Bayoole, avumiridde ekya maama n’abaana okutwalira amateeka mu ngalo okwenyigira mu kutta omwana newankubadde yasangiddwa mu kikolwa ekimenya amateeka.