Pulezidenti w’ekibiina ki NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) avuddemu omwasi ku nsonga ya Gavumenti  ya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okuggala amassomero olw’okutangira Covid-19 okutambula ennyo.

Pulezidenti Museveni bwe yabadde ayogerako eri eggwanga omwezi oguwedde Ogwomusanvu ng’asinzira mu State House Entebe, yagambye nti olw’okutangira abayizi okulwala, abayizi bonna wakati we 12 – 18 balina okusooka okubagema Covid-19 nga tebannaba kudda ku massomero.

Agamba nti wadde abayizi bali waka, ekisinga obukulu mu kiseera kino, kwe kutaasa obulamu bw’abayizi mu ggwanga lyonna.

Wabula Bobi Wine bwe yabadde ayogerako eri bannakibiina ku kitebe ky’ekibiina e Kamwokya mu kujjukira bannakibiina abazze battibwa n’okusingira ddala mu biseera bya Kampeyini nga tugenda mu kulonda kwa 14, Janwali, 2021, agamba nti Gavumenti yakoze nsobi okuggala amassomero.

Bobi Wine alaze okutya olw’omuwendo gw’abayizi abawala abafunye embutto mu kiseera kino eky’omuggalo gw’okulwanyisa Covid-19 mu ggwanga.

Bobi Wine agamba ebiriwo biraga nti Gavumenti tefuddeyo ku byenjigiriza mu ggwanga era omuwendo gw’abaana abafunye embutto gweyongedde okusukka ebitundu 20 ku 100, ekyongera okuteeka eggwanga mu katyabaga.

“Singa nze mbadde mu buyinza, singa abayizi bali ku massomero kuba tulina entekateeka wabula Pulezidenti Museveni ebintu bimulemye”, Bobi Wine ku nsonga z’amassomero.

Bobi Wine

Ate minisitule y’ebyenjigiriza n’emizannyo egumizza abazadde ku ky’abayizi okudda ku massomero wakati mu kulwanyisa Covid-19.

Okusinzira ku Minisita omubeezi ow’ebyenjigiriza ebyawaggulu, John Chrysostom Muyingo, enteseganya wakati w’abasawo n’abakungu mu byenjigiriza, bakyali mu kutema empenda ku ngeri y’abayizi okudda ku massomero.

Minisita Muyingo agamba nti betegefu okwaniriza buli muntu yenna ayinza okuwabula ku ky’okuzza abayizi ku massomero.

Ate Minisita omubeezi ow’ebyenjigiriza ebisookerwako Dr. Joyce Moriku Kaducu agamba nti okuzza abayizi ku massomero, abasawo balina okwesigamwako, okuwabula akakiiko akali ku ddiimu ly’okulwanyisa Covid-19 mu ggwanga.

Minisita Dr. Kaducu agamba nti newankubadde balina okuzza abayizi ku massomero, balina okutangira abayizi okulwala abangi era y’emu ku nsonga lwaki abayizi bali waka.

Mu nsi yonna, abantu 207,148,607 bebakazuula nga balina Covid-19, 185,753,050 bafunye obujanjabi, 4,362,027 bafudde nga Uganda yakazuula abalwadde 96,678, ate abaakafa bali 2,863.