Okutya kweyongedde eri abatuuze mu bendobendo ly’e Masaka, olw’abantu abattibwa okweyongera mu kitundu kyabwe.
Abantu 21, battiddwa mu bbanga lya myezi 2, okuva nga 22, omwezi oguwedde Ogwomusanvu, 2021.
Peter Mayanja, myaka 30 abadde omutuuze ku kyalo Bisanje mu ggoombolola y’e Kabonera mu kibuga kye Masaka, azuuliddwa enkya ya leero nga yattiddwa.
Omulambo gwe, gusangiddwa mu kitaba ky’omusaayi, nga yafumitiddwa ebiso ku mutwe, yakubiddwa emiggo ate ku ssaawa nga 2 ez’ekiro, abatemu basse omukyala Anent Nampijja Muwangaza ali mu gy’obukulu 60, abadde omutuuze ku kyalo Kasaali era mu ggoombolola y’e Kabonera.
Mayanja okuttibwa, awezezza omuwendo gw’abantu mukaaga (6) mu nnaku 4 abattiddwa, okuva ku Mmande nga 23, omwezi guno Ogwomunaana, 2021 ekyongedde okutiisa abatuuze.
Wabula omwogezi wa Poliisi mu kitundu ekyo, Muhammad Nsubuga, agamba nti Poliisi eyongedde amaanyi mu kunoonyereza okuzuula abatemu era waliwo abakwattiddwa.
Nsubuga agamba nti, okunoonyereza kulaga nti abatemu, begumbulidde okutta abantu abasula bokka, abatambula mu ssaawa za kafyu nga ne Mayanja attiddwa mu ngeri bwetyo.
Mungeri y’emu agambye nti abatemu, batuuze mu kitundu kyabwe kyokka eky’okutta abantu kiriinga ekigendereddwamu okutisatiisa abatuuze ssaako n’okukyaya abantu, ekitongole kya Poliisi nga balowooza kiremeddwa okubakuuma.
Embeera eri mu kitundu ekyo, yewalirizza abakiise ba Palamenti abasibuka mu kitundu ekyo, okwekubira enduulu eri Gavumenti ku nsonga y’ebyokwerinda.
Bano nga bakulembeddwamu akulira oludda oluvuganya mu Palamenti era omubaka we Nyendo-Mukungwe, Matthias Mpuuga, bawanjagidde Minisita w’ebyokwerinda Jim Muhwezi ne Minisita w’ensonga z’omunda mu ggwanga Kahinda Otafiire okulaga nti bakola.
Mpuuga agamba nti bakooye omuzannyo ku nsonga y’abantu okuttibwa, abasukka 20 nga Poliisi, eteekeddwa okulaga nti bakola omulimu gwabwe, ssaawa 24 okusinga okudda mu kubuzabuza abatuuze nti banoonyereza ng’abantu battiddwa.
Nga basinzira ku Palamenti y’eggwanga, n’omubaka omukyala ow ekibuga kye Masaka Juliet Kakande, agamba nti ebiriwo biraga nti Poliisi eremeddwa nga kiswaza abantu abasukka 20 okuttibwa, nga befuula abanoonyereza.
Poliisi egamba nti abasinze okuttibwa mwe muli abantu abakulu, era kiteeberezebwa nti n’obutakaanya ku ttaka, eyinza okuba emu ku nsonga.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/387367736091901