Kyadaaki Poliisi ekutte omusajja eyalabikidde mu katambi ku mikutu migatta bantu n’okusingira ddala Face Book ne WhatsApp nga eyeesibye leesu ng’akuba mukyala we.
Benson Okongo akwattiddwa Poliisi y’e Natete ku misango gy’okukuba omukyala olw’obutakaanya wakati waabwe.
Mu katambi, akagambibwa okuba nga kakwatiddwa neyiba, Okongo yabadde akuba mukyala we Nagawa Sauda myaka 36, omutuuze we Mutundwe Hill mu zzooni y’e Kigaga.

Omukyala Nagawa yakubiddwa empi, ensambaggere, okumwambula bulawuzi kyokka oluvanyuma omusajja Okongo yakutte bulooka bbiri (2) zeyakubye Nakawa ku mutwe era mu vidiyo alaga nti yabadde awunze.
Kigambibwa Okongo yakuba Nagawa nga 14, Ogwomunaana, 2021 era yakwatiddwa abakulembeze b’oku kyalo ne bamutwala ku Poliisi.
Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Asp Luke Owoyesigyire, Okongo aguddwako omusango gw’okulumya omuntu era oluvanyuma lw’okunoonyereza, wakutwalibwa mu kkooti.