Enduulu n’okusakaanya bibuutikidde Palamenti y’eggwanga akawungeezi ka leero, Ssaabaminisita Robinah Nabbanja, bw’asabye omubaka wa Monicipaali y’e Kira Ibrahim Ssemujju Nganda okulaga obusajja ayogera, ki kyamwagalako ng’omuntu, okusinga okumwogerera amafukule.

Nabbanja okutabuka, kidiridde Ssemujju, okuteekawo embeera enyonyole, lwaki asukkiridde okutuuka mu Palamenti ekikeerezi ate nga yavunaanyizibwa ku mirimu gya Gavumenti mu Palamenti.

Ssemujju agamba nti kiswaza Nabbanja okutuuka mu Palamenti ku ssaawa 10 ate nga Palamenti entuula ziva ku ssaawa munaana (8) emirimu gye egy’okwanukula ku bigenda mu maaso mu ggwanga, ne gikolebwa Nampala wa Gavumenti Thomas Tayebwa, ekintu ekitakkirizibwa.

Wabula Nabbanja avudde mu mbeera era mu kwanukula agambye nti bukya alondebwa omukulembeze w’eggwanga ku bwa Ssaabaminisita, Ssemujju ayongedde okumusojja ng’ayita ku TV, ne Laadiyo nga bwali omukyala omunafu, nga tasobola wadde, okulondebwa okulembera Kkampuni ya Kasasiro.

Nabbanja nga Palamenti yonna etudde, awadde Ssemujju omukisa nti bw’aba alina kyamwagalako ng’omuntu, akyogera mu lwatu okusinga okusirika n’okumulumbagana, ekivuddeko enduulu n’okusakaanya okubutikira Palamenti.

Pm Nabbanja

Wabula Ssemujju mu ngeri y’okwekaza, alabudde Nabbanja okuva mu kwebuzabuza asigale ku mulamwa kuba singa mu Palamenti abadde atuuka mu biseera ebituufu, emirimu gye yandibadde agikola bulungu ddala.