Omuyizi wa S4 mu ggwanga erya Kenya mu bitundu bye Nakuru, attiddwa oluvanyuma lw’okusangibwa ng’ali mu kwerigomba ne muk’omusajja ali mu gy’obukulu 40.

Edmond Kipng’etich myaka 19 yattiddwa, ekirese abatuuze nga bali mu kiyongobero.

Ssemaka Japheth Bii akomyewo awaka, nga mukyala we ali mu kaboozi n’omulenzi era amangu ddala akutte ejjambiya, omulenzi namutematema.

Omulenzi abadde agezaako okudduka ng’ali bukunya wabula ssemaka tamukkiriza era amutemyetemye ng’omukyala bw’akuba enduulu okubataasa.

Edmond Kipng’etich

Wabula ssemaka olumaze okutematema omulenzi adduse era abadde amanyi amusse nga n’omukyala atidde nga naye adduse olw’okutya omusajja okumutta.

Abatuuze webatuukidde ng’omulenzi ali mu mbeera mbi nga yenna ali mu kitaba kya musaayi kwe kumuddusa mu ddwaaliro Rift Valley General Hospital era afudde bakamutuusa.

Okusinzira kw’addukira Poliisi mu kitundu ekyo Peter Obonyo, Poliisi yategezeddwa ng’omulenzi amazze okuttibwa era okunoonya ssemaka ku misango gy’okutta omuntu, kutandikiddewo.