Minisitule y’ebyenjigiriza esambaze ebyogerwa n’ebiyitingana nti abayizi bakudda ku massomero, mu sabiiti nga 2 okuva kati, omwezi guno Ogwomwenda, nga baakutandika n’abayizi abali mu kibiina ekisooka (P1) P2, P3 abaludde nga bali awaka ssaako n’abali mu siniya esooka S1 ne S2.

Okusinzira ku mwogezi wa Minisitule y’ebyenjigiriza Dr. Dennis Mugimba, ebitambula byabulimba era abazadde balina okulinda ekiwandiiko ekitongole okuva mu Minisitule yaabwe.

Dr. Mugimba yetonze ku lwa Minisitule y’ebyenjigiriza era agamba nti ebiri mu kutambula nti abayizi balina okudda ku masomero byabulimba nnyo era abazadde balina okubyesamba.

Dr. Mugimba

Mungeri y’emu  agumizza abazadde nti abaana bakudda ku massomero mu kaseera akatuufu.

Dr Mugimba

Dr. Mugimba ng’asinzira ku Media Centre mu Kampala, alabudde abazadde okwewala amawulire ag’obulimba ku ngeri y’okuzza abayizi ku massomero.

Agamba nti amawulire amatuufu, galina okuva mu Minisitule y’ebyenjigiriza, mu Minisita w’amawulire, tekinologiya n’okulungamya eggwanga Dr. Chris Baryomunsi oba omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni okuvaayo, okutegeeza eggwanga mu butongole.

Dr. Mugimba mu ngeri y’emu abotodde ekyama nti bateekawo dda olunnaku, abayizi okudda ku massomero kyokka bakyalinze omukulembeze w’eggwanga okubakkiriza okutegeeza abazadde.

Agamba, nti balina okwekeneenya entambula y’obulwadde, abasomesa okubagema Covid-19, oluvanyuma bategeeza eggwanga.

Mu kiseera kino abasomesa bali mu gemesebwa Covid-19 era Gavumenti egamba nti etunuulidde okugema abasomesa 550,000 mu ggwanga lyonna.

Gavumenti egamba nti singa abasomesa 357,500 bagemebwa nga bakola ebitundu 65 ku 100, abayizi basobola okudda ku massomero.

Dr. Mugimba mu ngeri y’emu asabye abayizi abali ku matendekero agawaggulu abali waggulu w’emyaka 18 okweyambisa Ndaga muntu za matendekero gaabwe okugenda mu bifo we bagemera abasomesa, okugemebwa.

Agamba nti mu kiseera kino Gavumenti etunuulidde abayizi abali ku matendekero agawaggulu kyokka abayizi bonna wakati w’emyaka 12 – 18 balina okulindako.

Wadde Gavumenti yali yakkiriza abayizi abamu okudda ku massomero, abayizi bonna abali mu bibiina ebyawansi, baakoma okusoma mu March, 2020, oluvanyuma lwa Covid-19 okutuuka mu ggwanga.

Uganda yakazuula abalwadde 120,075 ate yakafiisa abantu 3,023 nga mu kiseera kino abagambibwa okuba nga bali mu mbeera mbi bali 449.