Omuyimbi Winnie Nwagi, ayongedde okulaga nti buli mukyala, asobola bulungi nnyo okusikiriza abasajja singa ajjumbira okwekolako n’okukuuma omubiri.
Mu Uganda, Nwagi y’omu ku bakyala abategeera kye bayita omukuuma omubiri wadde mukyala muzadde.
Bangi ku bakyala oluzaala omwana yenna, eby’okwekuuma nga abivaako era bangi emibiri givudde mu ‘Shape’, ekivuddeko n’abasajja okubaddukako.

Nwagi alaze nti wadde mukyala yazaalako, omukyala yenna alina okwekuumira ku mutindo era kisobola bulungi nnyo okusikiriza buli musajja singa ajjambira okukola dduyiro.

Dduyiro ayamba mu bintu bingi nnyo omuli omukyala okukola obulungi mu nsonga z’omu kisenge, okukuuma omubiri nga guli mu ‘Shape’, okulwanyisa endwadde eziyinza okulemesa okulabika obulungi, okusala omugejjo n’okwewala okukadiwa amaangu.

Nwagi y’omu ku bakyala abakola dduyiro buli lunnaku era y’emu ku nsonga lwaki alabika bulungi, ekyongedde okusanyalaza emitima gy’abasajja nga buli omu amwegomba kuba mukyala alabika bulungi.
Omukyala ng’alabika bulungi, akola dduyiro, aba n’ebitundu 90 ku 100 okulaga ebisoko by’omu kisenge kuba aba takoowa mangu.