Katikkiro wa Buganda munnamateeka Charles Peter Mayiga agumizza Obuganda ku bulamu bwa Ssabasajja Kabaka, Ronald Muwenda Mutebi II aludde ng’atawanyizibwa ekirwadde kya Alaje.
Ssaabasajja, okuva omwezi oguwedde Ogwomunaana, 2021 abadde mu ggwanga erya Germany era yakomyewo ekiro, ekyekeesa ku lunnaku Olwomukaaga nga 4, Ogwomwenda, 2021.
Ezimu ku nsonga ezamutwala, kwe kufuna abasawo, abakugu mu kujanjaba Aleja era okusinzira ku Katikkiro Charles Peter Mayiga, Magulunnyondo yafunye obujanjabi obwetagisa ate obwekikugu.
Mukuumaddamula Peter Mayiga agumizza Obuganda okusigala nga bakakamu ku bulamu bwa Maaso moogi kuba Alaje akwattiddwa mu ngeri ya kikugu era enkyukakyuka ku bulamu bwe, eyongedde okuzza akamwenyumwenyu.
Katikkiro Mayiga, ayogedde ne ku kizimbe ekyagudde mu Kisenyi e Mmengo, Akeedi ebadde ezimbibwa eyagudde emisana ku Ssande nga 5, Ogwomwenda, 2021.
Ng’asinzira ku Bulange e Mmengo, Mayiga asaasidde famire z’abantu 6 abafiiriddwako abantu baabwe era asabye ekitongole ki Kampala Capital City Authority (KCCA), okwongera amaanyi okwekeneenya entambuza y’emirimu ku bizimbe ebizimbisibwa, okutangira ebizimbe okugwa n’abantu okufa.
Ate omuloodi wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago asabye ekitongole kya Poliisi okunoonya omugagga Haruna Ssentongo, nannyini kizimbe ekyagudde.
Lukwago agamba nti Ssentongo okuzimba ekizimbe mu ngeri bwetyo ne kitta abantu mukaaga (6), kabonero akalaga nti waliwo obulagajjavu era kati Ssentongo ali ku misango gya butemu.
Ate ekitongole ky’amaggye ekirwanyisa obutujju ekya UPDF Joint Anti-Terrorism Taskforce (JATT), kikutte abantu 4 mu Kampala ku misango egyekuusa ku butujju mu ggwanga.
Okusinzira kw’amyuka omwogezi w’amaggye Lt Col Ronald Kakurungu, abakwate baali bakolagana ne Abdul Katumba eyakwatibwa nga 26, omwezi oguwedde Ogwomunaana, 2021 mu disitulikiti y’e Pader, ku bigambibwa nti yali atekateeka obulumbaganyi mu kuziika eyali amyuka, omuddumizi wa Poliisi mu ggwanga Lieutenant General Paul Lokech.
Lt Col Kakurungu ng’asinzira ku kitebe kya Poliisi e Naguru, agumizza Bannayuganda okusigala nga bakakamu ku nsonga y’ebyokwerinda kyokka agamba nti ebikwekweeto n’okunoonyereza abayinza okutabangula eggwanga kukyagenda mu maaso.
Mungeri y’emu agamba nti okunoonyereza kulaga nti abatujju bava mu kabinja kya Allied Democratic Forces (ADF) abaludde nga batawanya eggwanga okuva mu Congo.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/1746417098875580