Omu ku bakulembeze b’oludda oluvuganya mu ggwanga erya Rwanda ate nga musomesa ku Yunivaasite Dr. Christopher Kayumba akwattiddwa ku misango egyekuusa okusobya ku bakyala.
Kayumba yayitiddwa ekitongole kya Poliisi ekivunaanyizibwa mu kunoonyereza ku misango era bwe yageenze okweyanjula okugibwako sitetimenti, yakwattiddwa.
Okukwattibwa, abadde yakatongoza ekibiina ki Rwandan Platform for Democracy (RPD) okuvuganya Gavumenti ya Paul Kagame abadde mu ntebe okuva nga 22, Ogwokuna, 2000.
Kigambibwa ng’omusomesa ku Yunivaasite, aliko abaana be yasobyako era abaavuddeyo nga betaaga obwenkanya.
Wabula wadde yakwattiddwa, Kayumba yegaanye emisango gyonna era agamba nti emisango gigendereddwamu kusiiga linnya lye nziro.
Waliwo ebigambibwa nti Kayumba, abayizi yabakozesa ng’asinzira mu offiisi ye bwe yali abasuubiza okukola ku nsonga zaabwe n’okusingira ddala abayizi abaali bagudde ebigezo, okubawa makisi ez’obwereere.
Ate bamu ku bannansi mu ggwanga erya Rwanda bagamba nti okukwattibwa kwa Kayumba byabufuzi kuba y’omu ku basomesa abalungi mu ggwanga.
Dr. Kayumba musajja alina PhD era musomesa w’amawulire ku University of Rwanda (UR).
Ate wano mu ggwanga Uganda, Poliisi ekutte omuntu omu (1) ku misango gy’okutta omuwala ali mu gy’obukulu 17, agambibwa nti yattiddwa abadde muganzi we.
Omugenzi Mackline Tushemereirwe, kigambibwa ku myaka 17 abadde mutuunzi w’akaboozi era omulambo gwe, gwazuuliddwa mu kitaba ky’omusaayi.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi, Elly Maate, omulambo gwasangiddwako ebiwundu ku mutwe, yabadde avaamu omusaayi mu bitundu by’ekyama, ekiraga nti yasobezeddwako nga tebannamutta.
Omugenzi, abadde mutuuze mu Tawuni Kanso y’e Buhoma mu disitulikiti y’e Kanungu.
Poliisi egamba nti omugenzi, yakyalidde muganzi we era yattiddwa oluvanyuma lw’okusinda omukwano.
Omulambo, gwasangiddwa abatuuze mu nnimiro ne batemye ku Poliisi, akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku ssaawa ng’emu (7:00PM).
Maate agamba nti wakati mu kunoonyereza muganzi w’omugenzi akwattiddwa era atwaliddwa ku misango gy’okutta omuntu.
Mungeri y’emu Maate asabye abatuuze abalina amawulire, okuyamba Poliisi mu kunoonyereza.
Wabula abamu ku batuuze abagaanye okwatuukiriza amannya gaabwe, bagamba nti omulenzi aludde ng’alina obutakaanya olwa muganzi we kati omugenzi okwetunda, nga kiyinza okutambuza obulwadde era bwe kiba nga kituufu yeyamusse, eyinza okuba emu ku nsonga.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/268165058297005