Omusawo awunze nga bamutwala mu kkomera!

Abantu basatu (3) basimbiddwa mu kkooti y’omulamuzi asookerwako ku Mwanga 11 mu Kampala Timothy Lumunye, ku misango gy’okwenyigira, ogezaako okutunda omwana myezi 3 mu ggwanga erya South Sudan sabiiti ewedde ku Lwokusatu nga 8, omwezi guno Ogwomwenda.

Bano okuli omusawo Akankwasa Gerald omutuuze we Matugga, kitunzi mu kibuga Juba Kayondo Kenneth ali mu gy’obukulu 30 ssaako n’omukyala Nambi Christine myaka 30 omutuuze we Kitende.

Mu kkooti baguddwako emisango 2 okwenyigira mu kukusa omwana n’okwekobaana okuzza omusango.

Nga bali mu kkooti

Bonna basindikiddwa ku Limanda mu kkomera e Kitalya okutuusa nga 27, omwezi guno Ogwomwenda 2021, wabula omukyala Nambi, ye akkiriziddwa okweyimirirwa, oluvanyuma lw’okutuukiriza ebisanyizo.

Nambi asobodde okuleeta abantu abatuufu  okuli bba ne muganda we okumweyimirira nga balina ebiwandiiko ebituufu omuli ebbaluwa ya ssentebe w’ekyalo, Ndagamuntu era basabiddwa ssente obukadde 10 buli omu ezitali za buliwo ate Nambi obukadde 5 ez’obuliwo.

Omukyala Nambi

Okusinzira ku Poliisi, abakwate bagiddwa mu Royale Motel e Nalukolongo era mu kugibwako sitetimenti bagambye nti waliwo omukyala munnansi wa South Sudan Monika Akello eyabadde abapangisizza okunoonya omwana gwayinza okugula ku ssente obukadde 20.

Oluvudde mu kkooti, Nambi ne famire ye bagaanye okwogerako eri bannamawulire era bonna babadde banyivu nnyo era omukyala (Nambi) abadde ayagala kukaaba.

Poliisi yasobodde okuwamba emmotoka emmotoka 2 ez’abakwate okuli UBG443F ne UBG107D ate mu kwekebejja emmotoka, mwasangiddwamu ssente obukadde 64.

Poliisi egamba nti Akello, abadde akulungudde sabiiti 2 e Buziga nga bw’anoonya omwana wabula mu kiseera kino aliira ku nsiko nga yadduse.

Okunoonyereza kulaga nti omwana abadde wakusaddakibwa oba ng’omukyala aliko omusajja, gwe yategeeza nti yafuna olubuto lwe ng’alina okutwala omwana.

Charles Twine, omwogezi wa Poliisi enoonyereza ku misango eya Criminal Investigations Directorate agamba nti wadde abakwate batwaliddwa mu kkooti, Poliisi ekyanoonyereza.

Twine agamba nti balina okunoonyereza okuzuula ekituufu lwaki omukyala yabadde yetaaga omwana.

Twine ku Media Centre mu Kampala

Mungeri y’emu alabudde abazadde okwongera obukuumi ku baana okwetangira abantu abakyamu abayinza okubatwala, okubatunda, okufuna ssente.

Twine era agamba nti wadde omukyala Akello yadduse e Buziga, ayinza okunoonya ekitundu ekirala gy’ayinza okufuna omwana kuba kirabika amwetaaga nnyo.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/369426654778845