Kyaddaki Fiona Nagirinya amanyikiddwa nga Sasha Ferguson alaze lwaki bba munnamawulire wa NBS Canary Mugume, musajja wanjawulo nnyo ku basajja abalala mu ggwanga.
Ng’omuwala omulala yenna, ne Sasha abadde afuna abasajja abenjawulo abamukwana kyonna naye abadde alaga nti alina omulenzi nga si mulala wabula Canary.

Nga bali mu ssanyu


Ku myaka 26, Canary olunnaku olw’eggulo yakubye kabiite we Sasha empeta mu kkanisa ya Miracle Centre Cathedral, Rubaga mu Kampala mu maaso ga Pasita Robert Kayanja.
Canary ne Sasha baludde nga bali mu laavu okutuusa olunnaku olw’eggulo, lwe baatongoza omukwano gwabwe.

Lwaki Sasha yatuuse ku buwanguzi!
Mu nsi, ekintu buguminkiriza n’obwesigwa, kintu kikulu nnyo mu mukwano era y’emu ku mpagi eyinza okuyambako okuzuula omuntu omutuufu.
Sasha abadde muguminkirizza nnyo ne Canary era y’emu ku nsonga lwaki bali mu ssanyu mu kiseera kino.
Sasha asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okulaga gyenvudde we ne Canary.
Alaga nti Canary yali musajja musiwufu nnyo wabula yali amwagala okutuusa kati.

Sasha agamba nti ebintu by’omukwano, omuntu yenna alina okukola ennyo kuba temuli magiki, “Love needs effort not magic“.

Abawala besomye!
Wadde Sasha asobodde okulaga olugendo lwe ne bba Canary, abawala balaga nti ekyo tekimala okubalemesa Solido ya Canary.
Abawala bagala nti wadde Canary asobodde okukuba Sasha empeta, bamwepikira mu nsonga z’omu kisenge.
Sandra Willz agambye nti, “We shall still eat him lwampaka, rings dont scare us.

Ebikwata ku Canary!
Canary Mugume yazaalibwa nga 7, Janwali, 1995 era mu kiseera kino alina emyaka 26. Alina diguli mu Bachelor of Information Technology, munnamawulire okuva 2013 okutuusa olwaleero ku NBS TV.
Canary mwana nzalwa okuva e Mbarara, Uganda. Yasomera ku Mbarara Municipal Primary School, oluvanyuma yagenda ku Mbarara Secondary School ne Lutembe International School mu secondary.
Yafuna diguli mu information technology and computer engineering okuva ku International University of East Africa. Alina satifikeeti mu TV Production okuva mu U.S. Agency for Global Media.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/3117402215205607