Ensonga z’okuyimbula munnakibiina ki NUP Muhammad Ssegirinya akiikirira, abantu b’e Kawempe North mu lukiiko lw’eggwanga olukulu zijjulidde era wakusigala mu kkomera e Kigo ekirese bannamateeka be, abalonzi ssaako ne Famire nga basobeddwa.

Ssegirinya abadde ku limanda ne Allan Ssewanyana akiikirira abantu be Makindye West, ku misango egiwerako omuli egy’obutemu esatu (3), okulya mu nsi olukwe, okuwagira ebikolwa eby’okulya mu nsi olukwe ssaako n’okugezaako okutta omuntu, mu kitta bantu ekyali e Masaka wakati w’omwezi Ogwomusanvu n’Ogwomunaana.

Newankubadde akawungeezi k’olunnaku olwa Mmande, omulamuzi wa kkooti enkulu e Masaka Victoria Nakintu Katamba, yakkiriza okusaba kwabwe okweyimirirwa, Ssegirinya wakusigala mu kkomera.

Ssegirinya ne Ssewanyana mu kkooti e Masaka

Okusinzira ku Muloodi wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago era munnamateeka waabwe, akawungeezi ka leero omuwandiisi wa kkooti ewozesa bakalintalo Beatrice Atingu, agaanye okuyimbula Ssegirinya o lwa Francis Zaake, omubaka wa Monicipaali y’e Mityana obutabaawo.

Zaake ali bweru wa ggwanga kyokka y’omu ku bantu abasatu (3) abeeyimirira Ssegirinya ng’ali ne banne okuli Walugembe Robert ne Ndiwalana Christine nga mu kkooti, bonna babadde betaagibwa okuteeka omukono ku biwandiiko, ebiggya Ssegirinya mu kkomera.

Zaake obutabaawo, Ssegirinya wakudigala mu kkomera ng’omuloodi Lukwago bw’alambuludde.

Ate Ssewanyana ensonga ze zikoleddwako okuyimbula nga mu kkooti, abantu bonna abasatu (3) abaamweyimirira okuli munna FDC era omubaka wa Monicipaali y’e Kira Ibrahim Ssemujju Nganda, Veronica Nanyondo, omubaka omukyala ow’e Bukomansimbi ssaako ne Francis Katabaazi Katongole owe Kalungu East, bonna basobodde okuggya ne bateeka omukono ku biwandiiko, ebiggya Ssewanyana mu kkomera.

Munnamateeka Lukwago

Ssewanyana ne Ssegirinya okubakkiriza okweyimirirwa, omulamuzi Nakintu baamuwadde ensonga ez’enjawulo omuli okuba nti balwadde, balina okuweereza abantu baabwe nga n’emisango gikyanoonyerezebwako.

Omulamuzi yabayimbudde ku bukadde 20 ez’obuliwo ate abantu baabwe ababeeyimiridde obukadde 100 buli omu ezitali za buliwo.

Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Richard Birivumbuka lugamba nti, Ssegirinya ne Ssewanyana benyigira mu kutta Sulaiman Kakooza, Michael Kiza Nswa ne Tadeo Kiyimba ate Robert Ssebyato, wadde baamutema kyokka yasimatukka okufa.

Birivumbuka agamba nti batuula ku Happy Boys, Kalenda ssaako ne Kayanja Rest House mu Kampala, okuteesa ku ngeri y’okutta abantu e Masaka.

Ssegirinya ne Ssewanyana abali ku misango gye gimu n’abantu abalala abasukka mu 10 omuli Christopher Sserwadda, 23 omutuuze we Nyendo-Mukungwe, Mike Sserwadda ne Jude Muwonge nga batuuze ku kyalo Setaala.

Abalala kuliko Batesta Mutabaazi, Joseph Kayabula, Ashraf Kayinza, Issa Ssebunnya, Moses Kaganda ne Kaboyo Henry nga bonna batuuze ku kyalo Byanjiri mu disitulikiti y’e Lwengo.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/403436187952212