Mukyala w’omubaka Allan Ssewanyana, Lydia Namata awanjagidde omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni okuvaayo okuyingira mu nsonga ze olwa bba okuddamu okumukwata.

Namata agamba nti mu kiseera kino yetaaga okumanya embeera bba gy’alimu kuba engeri gye yakwatibwamu sinungi.

Agamba nti bba Ssewanyana oluvanyuma lw’okukwatibwa akawungeezi k’olunnaku Olwokuna ng’ayimbuddwa okuva mu kkomera e Kigo, abasirikale abaali mu ngoye eza bulaaka baddamu okumukwata nga bali mu mmotoka eyakazibwako erya ‘Drone’.

Agamba nti ‘Drone’ yali edduka nnyo era balemererwa okuzuula bba gye yatwalibwa.

Namata agamba nti mu kiseera kino yetaaga okumanya embeera ya bba n’okutegeera ekifo gye bamukuumira era bw’aba mufu, asabye ebitongole ebikuuma ddembe okumuddiza omulambo, okuziika bba okusinga okubonyabonya famire.

Wakati mu kulukusa amaziga, Namata agamba nti bakooye embeera mbi nga ye ssaawa, okuyimbula bba.

Ssewanyana ye mubaka we Makindye West mu Palamenti era nnyina Sarah Ssendaula avumiridde engeri gye bakuttemu omwana we.

Maama agamba nti mutabani we talina musango nga kiswaza okusiiga erinnya lye enziro.

Ate Munnamateeka w’abasibe okuli Muhammad Ssegiriinya owe Kawempe North ne Ssewanyana, Omuloodi wa Kampala  Ssaalongo Erias Lukwago asabye omukubiriza w’olukiiko lw’eggwanga olukulu Jacob Oulanyah ayingire mu nsonga z’ababaka okuggalibwa mu makomera mu ngeri emenya amateeka mu ggwanga.

Ssewanyana ne Ssegirinya bali ku misango egiwerako omuli egy’obutemu esatu (3), okulya mu nsi olukwe ssaako n’okugezaako okutta omuntu, mu kitta bantu ekyali e Masaka wakati w’omwezi Ogwomusanvu n’Ogwomunaana era ku limanda mu kkomera e Kigo, bamazeeyo sabiiti ezisukka mu bbiri (2).

Newankubadde akawungeezi k’olunnaku olwa Mmande, omulamuzi wa kkooti enkulu e Masaka Victoria Nakintu Katamba, yakkiriza okusaba kwabwe okweyimirirwa, Ssegirinya akyali mu kkomera ne Ssewanyana akyali mu mikono gy’ebitongole ebikuuma ddembe.

Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Richard Birivumbuka lugamba nti, Ssegirinya ne Ssewanyana benyigira mu kutta Sulaiman Kakooza, Michael Kiza Nswa ne Tadeo Kiyimba ate Robert Ssebyato, wadde baamutema kyokka yasimatukka okufa.

Birivumbuka agamba nti batuula ku Happy Boys, Kalenda ssaako ne Kayanja Rest House mu Kampala, okuteesa ku ngeri y’okutta abantu e Masaka.

Ssegirinya ne Ssewanyana abali ku misango gye gimu n’abantu abalala abasukka mu 10 omuli Christopher Sserwadda, 23 omutuuze we Nyendo-Mukungwe, Mike Sserwadda ne Jude Muwonge nga batuuze ku kyalo Setaala.

Abalala kuliko Batesta Mutabaazi, Joseph Kayabula, Ashraf Kayinza, Issa Ssebunnya, Moses Kaganda ne Kaboyo Henry nga bonna batuuze ku kyalo Byanjiri mu disitulikiti y’e Lwengo.

Wabula omwogezi w’amaggye mu ggwanga Brigadier General Flavia Byekwaso, agamba nti Ssewanyana ali mu mikono gyabwe ng’alina emisango emirala gy’alina okwanukula.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/147481420921737