Katemba abadde ku mukolo gw’embaga, omugole omukyala bw’alangiridde nti bba amukooye wadde abadde amwagala nnyo.
Omukyala agamba nti bba yamulimba nti musajja mukozi mu bbanka omu ku bakulu kyokka kimubuseeko okuzuula nti omusajja avuga Takisi.

Agamba nti yabadde tayinza kukiriza musajja mulimba kumuteekako empeta kuba amulimbidde ebbanga ddene era mu kiseera nga basemberedde okubagatta, omukyala yadduse mu Kkanisa.

Omugole ng’adduka

Omugole omusajja yasigadde ng’asobeddwa olwa kabiite we okuzuula amazima era yalabiddwako ng’amusaba okumusonyiwa.

Omusajja ng’asaba okumusonyiwa


Omusajja agamba nti yalimba omukyala nti mukozi mu bbanka kuba yali amwagala nnyo ku mutima gwe.

Embeera eno, yabadde mu ggwanga erya Nigeria era omusajja yasigadde asobeddwa.