Pasita Robert Mugisa myaka 40 akwattiddwa ku misango gy’okusobya ku mwana omuto, namutikka n’olubuto.

Omwana ali mu gy’obukulu 16, abadde asobezebwako Pasita Mugisha ku kyalo Kyerinda mu Tawuni Kanso y’e Buwenge mu disitulikiti y’e Jinja, ekirese abatuuze nga bawuninkiridde.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu kitundu ekyo James Mubi, Pasita Mugisha ali ne ku misango emirala,  gy’okwenyigira mu kukusa abaana abasukka 30.

Mubi agamba nti Pasita Mugisa asangiddwa n’abaana 33 nga kigambibwa yabaggya mu disitulikiti y’e Tororo.

Poliisi egamba nti Pasita Mugisa yasuubiza abazadde nti abaana bafunye  bbasale kyokka ekyewunyisa mu baana musangiddwamu omuto myezi 10.

Mubi agamba nti wadde Poliisi etandiise okunoonyereza, alabudde abazadde okweddako nga kiswaza omuzadde okuwaayo omwana we myezi 10, ekikolwa eky’obunafu mu bazadde.

Pasita Mugisa atwaliddwa ku kitebe kya Poliisi e Buwenge ku misango gy’okusobya ku mwana omuto n’okwenyigira mu kukusa abaana.

Ate Poliisi ezudde omulambo gw’omukyala atamanyiddwa mu kibira kye Bugoma mu disitulikiti y’e Kikuube.

Omulambo gusangiddwa okumpi n’ekyalo Nyanseeke mu muluka gwe Kaseeta.

Abatuuze abakedde okutambuza emirimu gyabwe bebagudde ku mulambo guno ne batemya ku ssentebe w’ekyalo Nyanseke Peter Twinamatsiko.

Ssentebe Twinamatsiko agamba nti omukyala eyattiddwa ali mu gy’obukulu 30 era yatemeddwa ku mutwe, ffeesi n’ebbeere era abatuuze basigadde mu kiyongobero.

Agamba nti omukyala tamanyikiddwa ku kyalo era kiteeberezebwa nti yattiddwa okuva mu kitundu ekirala, omulambo ne gutwalibwa ku kyalo kyabwe.

Julius Hakiza, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Albertine agambye nti omulambo gw’omukyala gutwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Hoima okwekebejjebwa.

Hakiza awanjagidde abatuuze abalina amawulire ku mukyala eyattiddwa okuyamba ku Poliisi okuzuula aba famire.

Ebirala ebifa mu ggwanga –