Bannakibiina ki NUP Muhammad Ssegirinya ne Allan Ssewanyana bazzeemu okusindikibwa ku limanda mu kkomera e Kigo, ku misango emiggya egy’obutemu, okutuusa nga 13, omwezi ogujja Ogwekkumi, 2021.

Ssegirinya, omubaka wa Palamenti akiikirira abantu Kawempe North ne Ssewanyana, akiikirira ab’e Makindye West, basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti wa esookerwako e Masaka Grace Wakooli, akawungeezi ka leero.

Okusinzira ku ludda oluwaabi, Ssegirinya, Ssewanyana, Jackson Kanyike n’abalala abakyaliira ku nsiko, benyigira mu kutta Joseph Bwanika eyali omutuuze ku kyalo Kisekka B mu muluka gwe Kankamba mu disitulikiti y’e Lwengo nga 2, Ogwomunaana, 2021.

Ekiwandiiko kya koooti


Wabula mu kkooti, tebakkiriziddwa kwogera kigambo kyonna olw’okuba bali ku misango gya naggomola.

Ssegirinya ne Ssewanyana oluvanyuma lw’okuddamu okukwattibwa nga bayimbuddwa mu kkomera e Kigo, babadde mikono gy’ebitongole ebikuuma ddembe.

Ku kkooti, batuusiddwa wakati mu byokwerinda, era  okuva mu mmotoka okuyingira mu kkooti munda, balaze nti bali mu mbeera mbi, nga batambula bawenyera era balabiddwako nga bayungula amaziga nga Ssegirinya atambula akutte kabutobuto.

Nga babatuusa ku kkooti

Mu kkooti nga bali mu kaguli, Ssewanyana akutte ku maaso olw’embeera gy’abadde ng’asangula amaziga ate Ssegirinya, alabise ng’asobeddwa ng’omukono agutadde ku ttama, olw’emisango emiggya, egibaguddwako.

Mu kusooka, bagulwako emisango egiwerako omuli emisango 3 egy’obutemu, okulya mu nsi olukwe, okuwagira ebikolwa eby’ekitujju ssaako n’okugezaako okutta abantu, mu kitta bantu ekyali e Masaka wakati w’omwezi Ogwomusanvu n’Ogwomunaana, 2021.

Nga bibasobedde mu kkooti

Ku misango emikadde, Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Richard Birivumbuka lugamba nti, Ssegirinya ne Ssewanyana benyigira mu kutta Sulaiman Kakooza, Michael Kiza Nswa ne Tadeo Kiyimba ate Robert Ssebyato, wadde baamutema kyokka yasimatukka okufa.
Birivumbuka agamba nti batuula ku Happy Boys, Kalenda ssaako ne Kayanja Rest House mu Kampala, okuteesa ku ngeri y’okutta abantu e Masaka.
Ssegirinya ne Ssewanyana abali ku misango gye gimu n’abantu abalala abasukka mu 10 omuli Christopher Sserwadda, 23 omutuuze we Nyendo-Mukungwe, Mike Sserwadda ne Jude Muwonge nga batuuze ku kyalo Setaala.

Abalala kuliko Batesta Mutabaazi, Joseph Kayabula, Ashraf Kayinza, Issa Ssebunnya, Moses Kaganda ne Kaboyo Henry nga bonna batuuze ku kyalo Byanjiri mu disitulikiti y’e Lwengo.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/416224903201610