Ababaka ba Palamenti Allan Ssewanyana owe Makindye West ne Muhammad Ssegirinya akiikirira abantu b’e Kawempe North, bakomezeddwawo mu kkooti esookerwako e Masaka emisana ga leero mu maaso g’omulamuzi Grace Wakooli.

Ssegirinya ne Ssewanyana bali ku misango egiwerako omuli emisango 3 egy’obutemu, okulya mu nsi olukwe, okuwagira ebikolwa eby’ekitujju ssaako n’okugezaako okutta abantu, mu kitta bantu ekyali e Masaka wakati w’omwezi Ogwomusanvu n’Ogwomunaana.

Olunnaku olwaleero, bakomezeddwawo mu kkooti wakati mu byokwerinda okulaba ab’oludda oluwaabi webatuuse mu kunoonyereza.

Ssegirinya ne Ssewanyana nga batuuka ku kkooti

Wabula okuva mu mmotoka okuyingira mu kkooti, balaze nti bali mu mbeera mbi, bali mu bulumi era balabiddwako nga bayungula amaziga.

Ssegirinya ne Ssewanyana nga bali mu maziga

Ssegirinya ne Ssewanyana bali mu mikono gy’ebitongole ebikuuma ddembe oluvanyuma lw’okuddamu okukwattibwa nga bayimbuddwa okuva mu kkomera e Kigo kakalu ka kkooti.