Kkooti y’e Makurdi mu ssaza lye Benue mu ggwanga erya Nigeria eriko Malaaya gw’esindise mu kkomera okumala ebbanga lya myaka 4, lwa kuluma omusajja kasitoma we, olulimi nga bali mu kwegatta.

Malaaya Dooshima Anems asingisiddwa emisango ebiri (2) omuli okulumya omuntu n’okumutusaako obuvune.

Omulamuzi Rose Iyorshe, asalidde Dooshima ebbanga lya myaka 4 oluvanyuma lw’okukkiriza emisango, gy’okuluma omusajja Amos Igbo mu ngeri y’okwetaasa.

Okusinzira ku ludda oluwaabi nga lukulembeddwamu , Insp Veronica Shaagee, Dooshima yakwattibwa nga 28, omwezi oguwedde Ogwomwenda, 2021.

Insp Veronica agamba nti Malaaya Dooshima n’omusajja Amos baali mu loogi y’e Tekdee ekiro kiramba.

Okunoonyereza kulaga nti Malaaya Dooshima, omusajja yamuggya ku Yaman Park, era yamuwa N2, 000 okumala ekiro kiramba.

Wabula mu kwewozaako, Malaaya Dooshima agamba nti mu basajja, Amos yali musajja ddala, yatokosa ekyuma okumala essaawa ezigenda mu 3 nga tawumudde.

Mungeri y’emu agamba nti nga bukya, Amos yaddamu okutabaala ebyalo okumala essaawa ezigenda mu 4 era mu ngeri y’okwetaasa, yefuula agenda okumunywegera, namuluma olulimi.

Malaaya Dooshima agamba nti newankubadde Amos yamuwa N2, 000 zaali ntono nnyo nga nayo emu ku nsonga lwaki yalina okwekyanga.

Ate Amos nga musajja mufumbo, agamba nti ku lunnaku olwo, yalimba mukyala we nti yali afunye safaali kyokka Malaaya okumuluma, kyatabangula amakaage.

Mu kiseera kino ali ku bujanjabi wakati mu kwejjusa okutokosa ekyuma nga tafuddeyo ku mbeera ya Malaaya gye yalimu.

Ate okudda awaka mu Uganda, Kkooti ensukkulumu ng’ekubirizibwa Ssaabalamuzi Alfonse Owinyi Dollo ewulidde okujulira kwa Ssaabawolereza wa gavumenti mwawakanyiza ensala ya kkooti etaputa ssemateeka eyajungulula enkola za kkooti ya magye mu musango gw’eyali omubaka wa Nakawa Micheal Kabaziguluka gweyatwalayo nga yemulugunya ku ky’okuvunaanibwa mu kkooti eno.
Ssaabawolereza wa gavumenti ayagala kkooti ensukkulumu ekkirize kkooti y’amagye egende mu maaso n’okuvunaana abantu ba bulijjo,,ekintu munnamateeka wa Kabaziguruka Medard Lubega Sseggona kyawakanyizza nasaba Ssaabalamuzi ne banne basattulule enkola za kkooti ya magye.

Ssegona agamba nti kimenya amateeka, kkooti y’amaggye okuwozesa abantu ba bulijjo.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/416224903201610