Omusuubuzi mu ggwanga erya Tanzania eyakutte mukyala we ng’ali mu kaboozi ne mukwano gwe, alese bannansi mu ggwanga nga bawuninkiridde.

Emu ku Ttiivi mu ggwanga erya Tanzania egambye nti omusuubuzi Issa Kasili omutuuze we Mpimbwe yakutte mukwano gwe Mayombi Mwela ng’ali mu Loogi ne mukyala we, nga bali mu kaboozi.

Kasili asabye omusiguze ssente ze Tanzania Ksh240,000 okutwala omukyala kuba tayinza kumuddira.

Mu Loogi, Kasili yavudde mu mbeera olw’okusanga mukyala we mu kikolwa kyokka yebalamye okutwalira amateeka mu ngalo era yawuliddwako nga agamba nti, “You have sl*pt with my wife Mayombi, you have fulfilled what you set out to do. Pay me back my expenses and take her, she is now your wife”.

Mungeri y’emu yatabukidde mukyala we nti wadde yamuzaalira omwana, obufumbo buweddewo, “You delivered a child for me and now you think you are untouchable. Our marriage is over from now”.

Wabula abamu ku bannansi batabukidde omugagga Kasili okusaba ssente, ekiraga nti mukyala we amufudde bizinensi.