Poliisi ekutte omu ku bantu abagambibwa okutigomya abatuuze n’okwenyigira mu kumenya amayumba gaabwe.

Okusinzira ku Poliisi, omukwate Ismael Katerega nga mutuuze we masajja era ng’avuga bodaboda ku siteegi y’e Bikajjo ku  Shauri yako.

Katerega, yasangiddwa ne banne babiri (2) nga bali ku bodaboda mu kiro mu bitundu bye Munyonyo, Poliisi eyabadde erawuna ekitundu, era banne bonna baasobodde okuduuka.

Mu kiseera kino Katerega ali Poliisi y’e Kabalagala era okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, Katerega yasangiddwa n’ejjambiya  satu (3), ebintu ebyenjawulo ebyeyambisibwa mu kumenya amayumba ssaako n’essimu, eziteeberezebwa okubeera enzibe.

Katerega agamba nti ye ne banne babadde baliko amaka gebagenda okumenya okubba. Agamba nti embeera embi y’emu ku nsonga lwaki ye ne banne benyigidde mu kubba okunoonya engeri y’okwebezaawo.

Katerega wakati mu kulukusa amaziga ku Poliisi y’e Kabalagala agamba nti obwavu kuba tebalina mirimu, y’emu ku nsonga lwaki bangi benyigidde mu kubba.

Ate Poliisi ekutte abantu musanvu (7) ku misango gy’okubba abantu biriyoni ezisukka mu 5 nga bayita ku mitimbagano ku nkola eyakazibwako eya online banking system.

Abakwate okuli Fred Sitakyange, Ephraim Bagambe, Allan Juuko, Bairon Ndyamuhaki, Peter Katumba, Erasmus Mutambi ne Ronald Bashijja, bagiddwa ku Mutaasa-Kafeero arcade, E-Tower building ne Cooper-Complex mu Kampala.

Kigambibwa baludde nga beyambisa emitimbagano okuba ssente okuva kwakawunta z’abantu mu bbanka ez’enjawulo.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi enoonyereza ku misango Charles Twine, wadde 7 bakwattiddwa, waliwo abaliira ku nsiko mu kiseera kino.

Mungeri y’emu agambye nti wadde bafunye abantu abenjawulo ababiddwako ssente zaabwe, waliwo ne bbanka, eziddukidde ku Poliisi okuyambibwa ku babbi era okunoonyereza kutandiikiddewo.