Omukazi abadde ekyanga abasajja akiguddeko, bw’akubiddwa empi ssaako n’ensambaggere era kabuze kata okumutta.

Omukazi ono ali mu gy’obukulu 30 nga mutuuze ku kyalo Udegu mu ssaza lye Benue mu Nigeria, yakubiddwa enkya ya leero.

Kigambibwa, muganzi we yategedde nti mukyala we, alina abasajja abalala omuli ne mukwano gwe nga basinga, kugenda mu loogi.

Akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Ssande, omukyala yakubidde bba essimu nti ayitiddwa mu bazadde be nga waliwo ensonga eya mangu, eyabadde emuyisizza.

Wabula enkya ya leero, omusajja abadde agenda ku mirimu gye, kwa kusanga mukyala we ng’aliko omusajja omulala gw’abadde anywegera, okumusiibula mu maaso ga loogi.

Amangu ddala, omusajja asobodde okusiba emmotoka, omusiguze addukiddewo, era omukyala akubiddwa nnyo, okutuusa abakuumi ku loogi, okuvaayo okutaasa.

Omukyala wakati mu kulukusa amaziga, atwaliddwa mu ddwaaliro nga yenna atonnya musaayi mu kamwa wabula abamu ku bazze okutaasa mubaddemu n’ababbi, era ensawo y’omukyala etwaliddwa nga n’omusajja wakati mu kulwanagana, essimu ye ebiddwa.

Wadde Poliisi eyitiddwa, wetuukidde nga n’omusajja adduse oluvanyuma lw’okutimpula omukyala.

Abamu ku batuuze, bagamba nti abakyala okwagala ennyo ssente, y’emu ku nsonga lwaki bangi begumbulidde okwenda nga n’abasajja basukkiridde okwebuzabuza mu nsonga z’omu kisenge, ekivuddeko abakyala okubaliga.

Mu kiseera kino obutambi bwe ng’ali mu kaboozi butandiise okutambula kuba essimu ye yabiddwa.

Mungeri y’emu mu Nigeria, abasawo abegatira mu kibiina kyabwe ekya National Association of Resident Doctors bayimiriza akediimo kaabwe era balangiridde okudda ku mirimu okutaasa bannansi.

Abasawo bateeka wansi ebikola olwa Gavumenti okulemwa okukola ku nsonga zaabwe okuli okubawa ebikozesebwa nga bali ku mirimu, okulemwa okuboongeza ku musaala ssaako n’okulongoosa embeera mwe bakolera.

Oluvanyuma lw’okuteeka wansi ebikola, ebyobulamu mu Nigeria mu malwaliro ag’enjawulo aga gavumenti, embeera ebadde yeyongedde okubiggya.

Wabula abakulu bagamba nti abasawo bagenda kudda ku mirimu okuva ku Lwokusatu nga 6, October, 2021, nga kikoleddwa okwongera Gavumenti obudde okukola ku nsonga zaabwe.

Mungeri y’emu balabudde nti singa abakulu mi Minisitule y’ebyobulamu balemwa okukola ku nsonga zaabwe, bagenda kuddamu okuteeka wansi ebikola.

Ekya basawo okudda ku mirimu, kiwadde bannansi essanyu kuba kigenda kuddamu okulongoosa entambuza y’emirimu.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/416224903201610