Bulooga Isma Olaxess amanyikiddwa nga Jajja Ichuli Kalevu asindikiddwa ku limanda mu kkomera e Kitalya okutuusa olunnaku olw’enkya ku Lwokubiri nga October, 5, 2021.
Isma myaka 43 asimbiddwa mu kkooti y’omulamuzi asookerwako ku Buganda Road Doreen Kalungi ku misango ebbiri (2) omuli okwogera ebigambo ebigendereddwamu okunyiiza omuntu ekimanyiddwa nga offensive communication n’okutambuza amawulire ag’obulimba.
Mu kkooti, omulamuzi ali ku misango gye Marion Mageni talabiseeko, kwe kusindikibwa ku limanda omulamuzi Kalungi okutuusa olunnaku olw’enkya ku Lwokubiri n’okuwuliriza okusaba kwe okweyimirirwa.
Isma ali ku misango gye gimu ne bannamawulire ba NBS (Next Media Service) Isaac Kawalya amanyiddwa nga Kayz, Brian Wako ne William Nkuluri.

Mu kkooti, kigambibwa bayogera ebigambo omuyimbi Emmanuel Ssuuna amanyikiddwa nga Omulangira Suuna by’ayita eby’obulimba, okwonoona erinnya lye mu pulogulaamu zzaabwe ku NBS TV ne Sanyuka TV.
Kayz ne banne bali ku limanda era mu kkomera e Kitalya okutuusa nga October 15,2021.
Ssuuna agamba nti bano bwe baali bakola olugambo ku nju ye amatiribona, baagamba nti talina bazadde ekitali kituufu era bategeeza nti enju eyinza okuba nga ya muntu mulala.
Isma musajja muganda nga mutuuze we Najeera 2 mu Monicipaali y’e Kira mu disitulikiti y’e Wakiso era omulimu gwe, musajja musiizi wa laangi mu mayumba.
Okusinzira ku ludda oluwaabi, mu August, 27, 2021 ku Sanyuka TV, abakwate nga basinzira ku TV, bategeeza nti Omulangira Ssuuna talina ssente, yatandiika okweraguza ate musajja ayagala abakyala abakadde okusobola okubaggyamu ssente.

Isma mu kkooti yegaanye emisango gyonna kyokka asindikiddwa ku limanda okulinda omulamuzi Mageni ali mu musango.
Munnamateeka we era omubaka we Kampala Central Nsereko Mohammed asuubiza okudda mu kkooti olunnaku olw’enkya, okutaasa omuntu we.
Nsereko awanjagidde abantu bonna Babulooga, okunoonya Omulangira Ssuuna, okumwetondera kuba ensonga mu kkooti ziyinza okuwanvuwa.
MP Nsereko agamba nti okweyambisa ebigambo by’obulimba ku muntu, ogwo musango era Babulooga, balina okweddako.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/416224903201610