Abakozi ba Next media okuli Isaac Kawalya amanyiddwa ennyo nga Kayz, Brian Wako, ne William Makuliro, amanyiddwa ennyo nga Makko, kkooti ekkirizza okusaba kwabwe beyimirirwe batandike okuwoza nga bava bweru omusango gwa kalebule oluvannyuma lw’ennaku eziwera nga bali ku limanda mu kkomera e Kitalya.

Bano bagasimbaganye n’omulamuzi ku mukutu gwa zoom nabakkiriza okweyimirirwa ku kakalu ka bukadde 10 buli omu ezitabadde zaabuliwo.

Beeyimiriddwa ab’oluganda lwabwe ssaako ne mukozi munnaabwe Nambooze Ann eyeyita Annatalie Ozze.

Mu kubawa akakalu kano, ba puliida bategeezezza omulamuzi nti omu kubano alina omukyala asulirira, ate omulala alina jjajja we gw’alabirira, n’omulala alina obuvunaanyizibwa bwa ssemaka.

Wabula newankubadde bakkiriziddwa okuvaayo mu kkomera, obudde bubatimaye obumaliriza emisoso gya kkooti, kwekusulayo leero okutuuka enkya lwebagenda okuyimbulwa.

Balagiddwa okudda mu kkooti nga 15 omwezi guno.

Mu kkooti, kigambibwa bayogera ebigambo omuyimbi Emmanuel Ssuuna amanyikiddwa nga Omulangira Suuna by’ayita eby’obulimba, okwonoona erinnya lye mu pulogulaamu zzaabwe ku Sanyuka TV.
Kayz ne banne babadde balina okuba ku limanda mu kkomera e Kitalya okutuusa nga October 15,2021.

Ssuuna agamba nti bano bwe baali bakola olugambo ku nju ye amatiribona, baagamba nti talina bazadde ekitali kituufu era bategeeza nti enju eyinza okuba nga ya muntu mulala.
Okusinzira ku ludda oluwaabi, mu August, 27, 2021 ku Sanyuka TV, Kays ne banne nga basinzira ku TV, bategeeza nti Omulangira Ssuuna talina ssente, yatandiika okweraguza ate musajja ayagala abakyala abakadde okusobola okubaggyamu ssente.

Akakiiko ka Palamenti ak’ensonga z’omunda mu ggwanga ssaako n’obutebenkevu, kasigadde kawuninkiridde n’okwebuuza engeri ebitongole byokwerinda, gye bitambuzaamu emirimu gyabwe.

Enkya ya leero, abasirikale mu kitongole kya Poliisi nga bakulembeddwamu omudumizi waabwe Martin Okoth Ochola, bakedde mu kakiiko ako era bagambye nti nabo, bakyebuuza n’okunoonyereza abantu abaddamu ne bakwata, abakiise ba Palamenti Allan Ssewanyana owe Makindye West ne Muhammad Sseggirinya owe Kawempe North, webaali bayimbuddwa mu kkomera e Kigo ku biragiro bya kkooti.

Wadde Ssegirinya ne Ssewanyana baakwattibwa abasajja abali mu ngoye eza bulaaka ne eza buligyo, nga bakutte emmundu n’okweyambisa emmotoka eyakazibwako erya “Drone”, Poliisi egamba nti abasajja, abaali mu kikolwa ekyo, tebaali mu kitongole kyabwe  era Poliisi teyategezebwako.

Wabula ssentebe w’akakiiko ak’ensonga z’omunda mu ggwanga ssaako n’obutebenkevu,  Nyakikongolo Rose, ebigambo ebyo byongedde okumukaaga, ku nsonga y’ebyokwerinda.

Ssentebe Nyakikongolo agamba nti ebitongole byokwerinda obutawuliziganya mu ntambuza y’emirimu gyabyo, abantu abakyamu, bayinza okweyambisa obunafu wakati w’ebitongole, okutuusa obulabe ku bannansi nga befudde abasibuka mu bitongole byokwerinda.

Ssegirinya ne Ssewanyana bali ku misango omuli obutemu, obutujju, okuwagira ebikolwa eby’ekitujju olw’ekitta bantu ekyali e Masaka mu Gwomusanvu n’Ogwomunaana.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/533493054639390