Omusomesa wa Pulayimale mu ggwanga erya Kenya mu kibuga Nairobi, asindikiddwa mu kkomera okumala emyaka 20 lwa kusobya ku mwana myaka 13.
Omusomesa Fredrick Mwangi Wango myaka 45 yasindikiddwa mu kkomera era okusinzira ku ludda oluwaabi, mu Gwokusatu, 2016, yasobya ku mwana emirundi egiwera.
Omwana yali mu kibiina eky’omukaaga ku Moi primary school bwe yali akkiriza okumusuza mu nju ye mu ssaza lye Mathare mu kibuga Nairobi mu ngeri y’okumuyamba ng’omusomesa.
Poliisi egamba nti taata, yali asukkiridde okutamiira, omusomesa Wango nga musajja mufumbo alina abaana babiri (2) kwe kusaba omuzadde okumuwa omwana, okumusuza, okumusomesa ssaako n’okumulabirira.
Wabula, omwana yali asukkiridde okubeera mu nju n’omusomesa kyokka abakulu ku ssomero webamutwala okumubuuza ku nsonga ezo, byonna yabyegaana.
Oluvanyuma, Poliisi yayitibwa, omwana bamutwala mu ddwaaliro okumwekebejja era abasawo bazuula nti abadde yegatta n’abantu abakulu.
Wakati mu kulukusa amaziga, omwana yategeeza nti omusomesa yamusuubiza okumutta singa ategezaako omuntu yenna wabula yali amusobyako emirundi egiwera n’okusingira ddala emisana nga mukyala we ali ku mulimu.
Omwana agamba nti olw’okutya okuttibwa, y’emu ku nsonga lwaki tatya okutegezaako omuntu yenna nti omusomesa we amusobyako.
Mu kkooti, omulamuzi David Ndugi agamba nti kyewunyisa Wango okusobya ku mwana gw’alina okusomesa.
Mungeri y’emu agambye nti omusomesa yamenya obwegwa okuva eri omwana n’okutyoboola eddembe lye omuli n’okumutisatiisa.
Omulamuzi Ndugi asinzidde ku nsonga ezo, okusiba omusomesa Wango emyaka 20 okuba eky’okuyiga eri abasomesa abalala ssaako n’abasajja bonna mu ggwanga.
Ate Pulezidenti w’eggwanga erya Burkina Faso Roch March Christian Kabore akoze enkyukakyuka mu bukulembeze bw’amaggye mu ggwanga nga kivudde ku bannansi okweyongera okutya olw’ebikolwa eby’ekitujju.
Mu sitetimenti eyasomeddwa ku TV y’eggwanga akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu, Col-Maj Ouédraogo Gilbert yalondeddwa ng’omuddumizi w’amaggye.
Col-Maj Somé Vinta yalondeddwa okumyuka omuddumizi w’amaggye ate Col Ouédraogo Souleymane okuddumira aggye ly’omu bbanga.
Abatujju bakabinja ka jihadist bakoze obulumbaganyi ku bannansi mu ggwanga Burkina Faso okuva 2015 era bangi battiddwa.
Sabiiti ewedde, bannamaggye abasukka 20 battibwa mu bitundu bye Sanmatenga.
Wabula Minisita w’ebyokwerinda Barthélémy Simporé agamba nti enkyukakyuka zikoleddwa okwongera okunyweza ebyokwerinda mu ggwanga.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/533493054639390