Besigye akomyewo nankuba mpya!
Abamu ku bannabyabufuzi ku ludda oluvuganya, batongoza enkola empya, eyinza okuyamba eggwanga okufuna enkyukakyuka mu bukulembeze bw’eggwanga lino okuva mu ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) Yoweri Kaguta Museveni.
Bano okuli Dr. Kizza Besigye, omuloodi wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago, John Ken Lukyamuzi The Man, Micheal Mabikke, Elton John Mabirizi, Sulaiman Kidandala, Peter Walubiri n’abalala, batongooza ekisinde ekituumiddwa ‘People’s Front for Transition’.
Mu kisinde mulimu ebibiina omuli Forum for Democratic Change – FDC, Conservative Party – CP, Social Democratic Party – SDP, Justice Forum – JEEMA, DP-Block, Social Democratic Party, and Uganda Young Democrats n’ebirala era ku mukolo ogubadde ku kitebe kya JEEMA mu Kampala, Dr. Kizza Besigye alondeddwa okubakulembera.
Besigye bw’akutte akazindaalo, awanjagidde bannayuganda betaaga enkyukakyuka, okwegata awamu, okulaga nti basobola okuleeta enkyukakyuka mu ggwanga, okusinga okudda mu bigambo.
Dr. Besigye era agamba nti ebiriwo biraga nti Uganda tesobola kufuna nkyukakyuka nga bayise mu kalulu nga balina okunoonya ekipya ku ngeri y’okukyusa obukulembeze.
Mungeri y’emu akangudde ku ddoboozi ku ntekateeka ya Gavumenti, ey’okuzza abaana ku massomero.
Besigye agamba nti bangi ku basomesa basuddewo obusomesa, nga kiswaza Gavumenti okutekateeka, abayizi okudda ku massomero omwaka ogujja, nga tefuddeyo ku nsonga y’abasomesa.
Ate Omuloodi Lukwago alondeddwa okumyuka Besigye ku bwa ssentebe, era agambye nti okulwanyisa ebikolwa, eby’okutwalira amateeka mu ngalo, bannayuganda balina okwegatta okulaga nti bakooye embeera.
Mungeri y’emu agamba nti, kino ekiseera si kya kalulu wabula abakulembeze okuva mu bibiina byonna okwegatta ku lw’obulungi bw’eggwanga.
Ate Pulezidenti w’ekibiina ki FDC Patrick Amuriat Oboi, agamba nti alina esuubi nti omukago gugenda kuleeta enkyukakyuka mu ggwanga lino.
Wabula omwogezi w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Joel Ssenyonyi agamba nti tebalina ntekateeka yonna kwegata ku kisinde ki People’s Front for Transition wabula basobola okukola bombi.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/533493054639390