Eyali akulira abasomesa ku Real Infant Primary School mu disitulikiti y’e Wakiso Didas Mpagi, akulukuse amaziga, omulamuzi bw’amusalidde okusibwa okutuusa lwalifiira mu kkomera.
Mu kkooti enkulu ewozesa emisango gya bakalintalo mu maaso g’omulamuzi David Wangututsi, Mpagi asingisiddwa emisango mukaaga omuli okusobya ku baana abato mukaaga (6) n’okubakukusa.

Okusinzira ku ludda oluwaabi, wakati wa 2016 ne 2019, Mpagi nga Pasita, yafuna abaana abalenzi 6 wakati wakati w’emyaka 10 ne 16 bwe yali abasuubiza basale nga balina kusula ku ssomero.

Nga bali ku ssomero, yabategeeza nti Gavumenti etongoza essomo ly’okunywegera nga yali alina okubatendeka.
Mungeri y’emu oluvanyuma lw’okubatendeka okwenywegera, Mpagi, bonna yabasobyako omu kw’omu ssaako n’okubalagira okumukomba ebitundu by’ekyama.
Mpagi, yasuubiza okutta abaana bonna singa bategezaako omuntu yenna.
Mu kkooti, oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Joseph Kyomuhendo, baleese abajjulizi 12 omuli n’abaana 6 beyali akozesa, omufumbi ssaako ne metulooni Aisha Nabosa eyazuula nti abaana baali bayita mu mbeera.

Wadde Mpagi yegaana emisango gyonna, Omulamuzi agambye nti obujjulizi obuteleddwa oludda oluwaabi, kwasinzidde okusingisa Mpagi emisango n’okumusiba okutuusa okufiira mu kkomera.
Omulamuzi agamba nti abantu nga Mpagi, tebagwanidde kusigala mu bantu.
Ate Poliisi mu Nigeria, eyingidde mu nsonga okunoonyereza ku musomesa, Dr. Bode Steve Ekundayo ku misango gy’okusobya ku muyizi mu offiisi ye.
Dr. Ekundayo, musomesa ku University of Benin mu kibuga Benin mu ssaza lye Edo e Nigeria nga musomesa wa Lungereza ne Literature.
Kigambibwa ku Lwokubiri, nga 5, omwezi guno Ogwekkumi, 2021, yasobeza ku muyizi kyokka oluvanyuma yamusibidde mu offiisi.
Omuwala yasobodde okweyambisa essimu ye okuyita mikwano gye, okumuggulira era amangu ddala yatwaliddwa ku ddwaaliro lya Yunivaasite okwekebejjebwa.

Wabula omwogezi wa Yunivaasite Dr. Benedicta Ehanire, agambye nti Poliisi esabiddwa okuyingira mu nsonga ezo okunoonyereza, oba ddala kituufu, omusomesa waabwe Dr. Ekundayo yasobeza ku muyizi we.
Yunivaasite era egamba nti omuyizi asabiddwa okuwa Poliisi sitetimenti eyinza okubayambako mu kunoonyereza omuli n’okutwala alipoota y’abasawo.
Mungeri y’emu n’omusomesa Dr. Ekundayo asabiddwa okuddako ebbaali okutuusa nga Poliisi efundikidde okunoonyereza.
Omuyizi ali mu gy’obukulu 25, agamba nti yatidde okuba enduulu nti omusomesa ayinza okumutusaako obulabe era buli kimu kwagweredde ku mmeeza oluvanyuma omusomesa kwe kumusibira mu offiisi ye.
Wabula Dr. Ekundayo n’okutuusa kati yegaana emisango gyonna egy’okusobya ku muyizi we era naye asabye Yunivasite, omuyizi okumunonyerezaako, okuzuula lwaki yavuddeyo okumusiiga enziro.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=03tqFMPCk84