Poliisi mu Nigeria, eyingidde mu nsonga okunoonyereza ku musomesa, Dr. Bode Steve Ekundayo ku misango gy’okusobya ku muyizi mu offiisi ye.
Dr. Ekundayo, musomesa ku University of Benin mu kibuga Benin mu ssaza lye Edo e Nigeria nga musomesa wa Lungereza ne Literature.
Kigambibwa ku Lwokubiri, nga 5, omwezi guno Ogwekkumi, 2021, yasobeza ku muyizi kyokka oluvanyuma yamusibidde mu offiisi.
Omuwala yasobodde okweyambisa essimu ye okuyita mikwano gye, okumuggulira era amangu ddala yatwaliddwa ku ddwaaliro lya Yunivaasite okwekebejjebwa.
Wabula omwogezi wa Yunivaasite Dr. Benedicta Ehanire, agambye nti Poliisi esabiddwa okuyingira mu nsonga ezo okunoonyereza, oba ddala kituufu, omusomesa waabwe Dr. Ekundayo yasobeza ku muyizi we.
Yunivaasite era egamba nti omuyizi asabiddwa okuwa Poliisi sitetimenti eyinza okubayambako mu kunoonyereza omuli n’okutwala alipoota y’abasawo.
Mungeri y’emu n’omusomesa Dr. Ekundayo asabiddwa okuddako ebbaali okutuusa nga Poliisi efundikidde okunoonyereza.
Omuyizi ali mu gy’obukulu 25, agamba nti yatidde okuba enduulu nti omusomesa ayinza okumutusaako obulabe era buli kimu kwagweredde ku mmeeza oluvanyuma omusomesa kwe kumusibira mu offiisi ye.
Wabula Dr. Ekundayo n’okutuusa kati yegaana emisango gyonna egy’okusobya ku muyizi we era naye asabye Yunivasite, omuyizi okumunonyerezaako, okuzuula lwaki yavuddeyo okumusiiga enziro.
Eyali mukyala wa Pulezidenti Nelson Mandela, Graça Machel awanjagidde bannansi okwewala ebikolwa byonna ebityoboola eddembe ly’abakyala n’abaana abawala mu ggwanga lyonna erya South Africa.
Machel bw’abadde ayogera eri bannansi ku bikujjuzo bya Desmond Tutu okuweza emyaka 90, agambye nti bannansi betaaga emirembe.
Alabudde ne bannansi okwewala ebikolwa byonna eby’effujjo okusobola okutangira abantu abato okukula n’endowooza y’effujjo.
Machel era avumiridde ebikolwa byonna eby’abasajja abegumbulidde okusobya ku baana abawala abato, ekivuddeko bangi okufuna embutto.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/533493054639390