Eyali minisita omubeezi ku nsonga z’abakozi Herbert Kabafunzaki mu Gavumenti ya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni asingisiddwa omusango gw’okulya enguzi era omulamuzi amusalidde ekibonerezo enkya ya leero.

Mu kkooti eryanyisa obuli bw’enguzi, omulamuzi Margaret Tibulya alagidde Kabafunzaki, okusasula ssente obukadde 10 oba okusibwa emyaka 3.

Omulamuzi agambye nti oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Josephine Namatovu lwanjudde obujjulizi, nga tewali kubusabuusa kwonna, Kabafunzaki yenyigira mu kulya enguzzi.

Kabafunzaki asingisiddwa omusango gw’okulya enguzi bwe yasaba obukadde 15 okuva ku mugagga Hamid Mohammed nnannyini kkampuni ya AYA ne woteeri ya Pearl Of Africa mu Kampala.

Musajja wa Museveni mu ssuuti

Omugagga Mohammed yali ku misango gy’okukabasanya eyali omukozi we Jamila Opondo  nga Kabafunzaki yali yamusaba ssente, okuvuluga omusango gwe nga Minisita w’abakozi n’okutaasa erinnya lye okusiigibwa enziro.

Wabula nga 8, Ogwokuna, 2017, Kabafunzaki bamukwatira ku Serena mu Kampala ng’awereddwako ssente obukadde 5.

Ku Serena, Kabafunzaki yali n’omuyambi we Brian Mugabo era ebbaasa ya ssente gwe bagikwasa nagiteeka mu nsawo.

Obumu ku bujjulizi!

Waliwo n’amaloboozi agaakwatibwa ge baazannya mu kkooti nga gaali wakati wa Kabafunzaki ne Mohammed bwe baali bategeeragana okumuwa obukadde butaano nga baalina kusisinkana mu woteeri ya Serena mu Kampala.

Mu maloboozi gano kigambibwa nti Kabafunzaki yasuubiza Mohammed okwogera n’omuwala eyali amuvunaana okumukabasanya omusango aguveeko era mbu yamusuubiza n’okutuuza olukiiko lwa bannamawulire mwe yali agenda okulongooseza erinnya lye eryali lyonoonese mu ggwanga lyonna nga bamulaba ng’omusajja omukyamu.

Mu kkooti, waliwo akatambi akaleetebwa nga kalaga Kabafunzaki ng’ayogera ne Hamid mu kisenge ekimu mu woteeri ya Serena oluvannyuma n’aggyayo ebbaasa egambibwa okubaamu obukadde butaano wabula Kabafunzaki teyagikwata ng’omuyambi we Brian Mugabo gwe baazikwasa n’azissa mu nsawo.

Bannansi bavuddeyo!

Oluvanyuma lw’omulamuzi okuwa ensala ye, abamu ku Bannakampala basigadde banyivu nga bagamba nti Gavumenti eremeddwa okulwanyisa enguzi.

Bano okuli ategerekeseeko erya Musoke, Peter, Walakira, Moses n’abalala, bagamba nti kiswaza omuntu okuswabwa ssente obukadde 10 zokka ku musango gw’okulya enguzi. Musoke agamba nti abantu nga Kabafunzaki babadde bagwanira ekibonerezo nga kinene nnyo okusobola okutangira abantu abalala okwenyigira mu kulya enguzi.

Ate Poliisi y’okunguudo, eriko enguudo z’egenda okuggala olunnaku olw’enkya ku Lwomukaaga, Uganda bweneeba ejjaguza, ebikujjuzo bya mefuga.

Emikolo, gigenda kukuzibwa mu ngeri ya ‘Science’ ku kisaawe e Kololo nga ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni ayitiddwa ng’omugenyi omukulu.

Uganda esajjakudde ng’olunnaku olw’enkya, gigenda kuwera emyaka 59 bukya efuna bwetaaze okuva ku Bungereza mu 1962.

Kati no, omuddumizi wa Poliisi y’ebidduka mu Kampala n’emirirwano Kauma  Nsereko Rogers agamba nti enguudo zonna okumpi n’ekisaawe kye Kololo, zigenda kuggalwa.

Mungeri y’emu Nsereko alabudde aba bodaboda okugondera amateeka olunnaku olw’enkya, ku nguudo ezigenda okuggalwa.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=EO9CxX77noM&t=58s