Emmanuel Ayeni, omusomesa ku Brain Trust primary mu disitulikiti y’e Jinja akwattiddwa ku misango gy’okusobya ku mwana omuto, eyali omuyizi we.
Omusomesa Ayeni abadde abeera n’omwana ku mayumba g’essomero nga yamufuula mukyala we.
Taata w’omwana Swaibu Aboneka agamba nti yatwala omusango ku Poliisi y’e Buweera mu ggoombolola y’e Buwenge ogw’omwana we okubula oluvanyuma lwa bakulu ku ssomero okumutegeeza nti muwala we yali talabikako bwe yali amaze okukola ebigezo bya Primary Leaving Examinations-PLE mu March, 2021.
Aboneka agamba nti kiswaza omusomesa okudda ku mwana we omuto kuba abadde amwesiga nnyo.
Akulira ebyokwerinda ku kyalo Pande Samanya agamba nti omusomesa Ayeni abadde alemesa omwana okutambula wabula oluvanyuma lw’abatuuze okubuuza omwana ebibuuzo ebyenjawulo, omwana agamba nti Ayeni abadde amusobyako era abadde amutwala nga bba.
Samanya yakulembeddemu abatuuze okutegeeza ku Poliisi era amangu ddala Ayeni akwattiddwa.
Mu kiseera kino Ayeni atwaliddwa ku kitebe kya Poliisi e Buwenge era agaanye okuvaamu ekigambo kyonna.

James Mubi, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kiira agamba nti omwana atwaliddwa mu ddwaaliro okwekebejjebwa n’okuzuula embeera y’obulamu bwe.
Mubi agamba nti Ayeni aguddwako emisango gy’okusobya ku mwana omuto era awanjagidde abatuuze n’abakulembeze okuyambagana okulwanyisa ebikolwa by’okusobya ku baana abato.
Ate Poliisi y’e Jinja eriko omusajja Lil Andy gwenoonya ku misango gy’okusobya ku mwana omuto, nga 24, omwezi oguwedde Ogwomwenda, 2021.
Okusinzira ku Poliisi, omwana ali mu gy’obukulu 16 baamuggya awaka ne bamutwala ku Kiira sports club mu tawuni Kanso y’e Bugembe mu kibuga kye Jinja ne bamusobyako.
Andy yali mu mmotoka nga bulaaka era yasuubiza omwana, okumutwala okulya ku ssente ze.
James Mubi, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kiira agamba nti fayiro y’omusango eri ku kitebe kya Poliisi e Jinja era okunoonya Andy kugenda mu maaso.
Mungeri y’emu asabye Andy okuvaayo okweyanjula mu mikono gya Poliisi kuba Poliisi eyungudde basajja baayo, okumunoonya.
Mubi asabye abatuuze bonna abalina amawulire ku Andy, okuyamba ku Poliisi.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/3053527618256505