Ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni ajjukidde musajja we eyali ssaabaminisita wa Uganda John Patrick Amama Mbabazi, era amuwadde ekifo, okumukwasizaako mu ntambuza y’emirimu.

Pulezidenti Museveni alonze Mbabazi ng’omuntu ow’enjawulo okuva mu Uganda okutambuza emirimu mu South Sudan ne Ethiopia ku lwa Gavumenti (Special Envoy).

Okusinzira ku nsonda ezesigika, Pulezidenti Museveni yalagidde omuwandiisi we Dr Kenneth Omona okukola ne offiisi ya Pulezidenti ssaako ne offiisi evunaanyizibwa ku nsonga z’abakozi (Public Service Commission (PSC), okukola ku nsonga za Mbabazi, asobole okutandiika okukola emirimu mu bwangu.

Nga 29, September, 2021, Dr Omona ku lwa Pulezidenti yawandikidde omuwandiisi ow’enkalakalira mu offiisi ya Pulezidenti Hajj Yunus Kakande okukola ku nsonga za Mbabazi ng’ali n’akakiiko ka Public Service Commission, okuwa Mbabazi ebiragiro.

Wabula okusinzira ku Lindah Nabusayi, omuwandiisi wa Pulezidenti ku nsonga z’amawulire bwe yabadde ayogerako ne bannamawulire ba Daily Monitor, yabadde talina bukakafu ku nsonga za Mbabazi “Can’t confirm or deny” era yasabye okumuwa obudde okwebuuza n’okutegeera ekituufu.

Lwaki Mbabazi azzeeyo eri Pulezidenti Museveni?

Ensonda zaategeezezza nti abantu kumpi bonna abaali abawaguse mu NRM ne bagenda ne Mbabazi, babadde baabakolamu omulimu ne babazza mu “kintu”, olwo Mbabazi ne bamuleka mu bbanga.

Mu bantu abo mulimu abavubuka abaali bakulemberwa Adam Buyinza Luzindana n’abalala aba Poor Youth nga bonna baagenda bamatizibwa mpolampola okudda eka, era bangi babadde tebakyakwatagana na Mbabazi.

Kigambibwa nti tebaakoma ku kudda mu NRM wabula baasigala baperereza Mbabazi naye addeyo era abamu ne bamuteerako ddala akazito nga bamulaga ebizibu bye yabasuulamu bwe yabamatiza okumwegattako ne bava ku Museveni.

Abasinga ku bano baabazzaayo wakati wa 2016 ne 2017 mu kusika omuguwa kwa ‘Togikwatako.’

Waliwo n’abali mu gavumenti kyokka nga babadde babayisaamu emimwa nti balinnya ewa Museveni n’ewa Mbabazi abagambibwa nti nabo baakoze kinene okumatiza Mbabazi okudda ewa Museveni. 

Mbabazi yali ssaabaminisita wa Uganda okuva nga 24, May, 2011 okutuusa 19, September, 2014 era mu kulonda kwa 2016 y’omu ku bavuganya ku bwa Pulezidenti bwa Uganda.

Pulezidenti Museveni yalonda Ruhakana Rugunda okudda mu bigere bya Mbabazi nga 18, September, 2014.

Nga 15, June, 2015, Mbabazi yalangirira okwesimbawo ku bwa Pulezidenti. Amama Mbabazi yakulemberamu ekisinde kya The Democratic Alliance (TDA) era mu kulonda yafuna 1.39% nga yamalira mu kyakusatu.

Yazaalibwa nga 16, January, 1949 era mu kiseera kino alina emyaka 72.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/3053527618256505