Omuloodi wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago, akangudde ku ddoboozi ku ngeri ekitongole ekiramuzi, gye kikuttemu ensonga za bannakibiina ki National Unity Platform (NUP) Muhammad Ssegirinya, omubaka we Kawempe North ne Allan Ssewanyana owe Makindye West.
Ssegirinya ne Ssewanyana bali ku misango egiwerako omuli egy’obutemu, okulya mu nsi olukwe, okuwagira ebikolwa eby’ekitujju ssaako n’okugezaako okutta abantu mu kitta bantu ekyali e Masaka wakati w’omwezi Ogwomusanvu n’Ogwomunaana, 2021, ekyaleka abantu abasukka abasukka 20 nga battiddwa.
Bukya bakwattibwa, bakulungudde ebbanga, erisukka omwezi omulamba, nga bali ku limanda mu kkomera e Kigo.
Omwezi oguwedde, Ogwomwenda, 2021, omulamuzi wa kkooti enkulu e Masaka Victoria Nakintu Katamba yabakkiriza okweyimirirwa, wabula baddamu ne bakwatibwa ku misango gy’obutemu.

Kati no, wadde bazzeemu ne basaba okweyimirirwa mu kkooti enkulu e Masaka, munnamateeka waabwe, Omuloodi Ssalongo Erias Lukwago agamba nti eky’omukulembeze w’eggwanga lino era ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) Yoweri Kaguta Museveni okuwakanya eky’okuyimbula abantu abakwattiddwa ku misango gya naggomola omuli ettemu, obutujju, y’emu ku nsonga lwaki abalamuzi batya, okweyingiza mu nsonga za Ssegirinya ne Ssewanyana mu kiseera kino.
Pulezidenti Museveni agamba nti wadde abakwate, bateeberezebwa okwenyigira mu kutta abantu, naye bannayuganda balina okulowooza ku ddembe ly’abantu abattibwa.
Wabula Lukwago agamba nti ebigenda mu maaso mu ggwanga, byongedde okwanika ekitongole ekiramuzi ssaako n’okulaga nti abalamuzi bazinira ku ntoli za muzeeyi Museveni, ekintu ekimenya amateeka mu ggwanga.
Bw’abadde awayamu ne bannamawulire, agamba nti balina okukola kyonna ekisoboka, okutaasa abantu baabwe okubaggya mu kkomera nga bayita mateeka.
Ku nsonga ezo, omwogezi w’ekitongole ekiramuzi Johnson Karemani asambaze ebyogedde Lukwago enkya ya leero.
Karemani agamba nti ekitongole ekiramuzi kirina abalamuzi batono era mu kiseera kino bali ku misango gya byakulonda, nga tewali mulamuzi yenna atidde kuwulira ku nsonga Ssegirinyan ne Ssewanyana.
Ssegirinya ne Ssewanyana abali ku misango gye gimu n’abantu abalala abasukka mu 10 omuli Christopher Sserwadda, 23 omutuuze we Nyendo-Mukungwe, Mike Sserwadda ne Jude Muwonge nga batuuze ku kyalo Setaala.
Abalala kuliko Batesta Mutabaazi, Joseph Kayabula, Ashraf Kayinza, Issa Ssebunnya, Moses Kaganda ne Kaboyo Henry nga bonna batuuze ku kyalo Byanjiri mu disitulikiti y’e Lwengo.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/559396568625923