Ekiyongobero ekibuutikidde abatuuze ku kyalo Nawangoma cell mu ggoombolola y’e Jinja North mu kibuga kye Jinja, omwana Peace Nabirye myaka 17 bwe yesse.

Nabirye asobodde okweyambisa omuguwa okwetugira ku muti gwa ffene era omulambo gwe, gusangiddwa abatuuze nga gulengejja.

Okunoonyereza okusookerwako, kulaga nti muganda we ategerekeseeko erya Viola, abadde amulumiriza okwagala bba era mbu abadde asukkiridde okumusindikira mesegi z’omukwano ku ssimu ssaako n’okumusuubiza okumulambuza ebyalo.

Abatuuze basigadde mu kutya n’okuyungula amaziga era omulambo gutwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Jinja okwongera okwekebejjebwa.

Wabula James Mubi, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kira, agamba nti okunoonyereza kutandikiddewo okuzuula ekituufu ekivuddeko omwana okwetta.

Eddoboozi lya Mubi

Mungeri abatuuze bagamba nti mu kiseera kino ng’abaana tebasoma, okwegadaanga mu baana abato okweyongedde mu kitundu kyabwe era bangi bafunye embuto, kwe kusaba omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni okuyamba, abaana okudda ku massomero wakati mu kulwanyisa Covid-19.

Pulezidenti Museveni yaggala amasomero mu March, 2020 olwa Covid-19 okutuuka mu ggwanga. Omwezi ogujja ogwa November, 2021, abayizi abali ku matendekero aga waggulu, bagenda kuddayo ate abayizi abalala bonna, balina okulinda omwaka ogujja ogwa 2022.

Uganda mu kiseera kino yakazuula abalwadde ba Covid-19, 124,808 ate 3,179 bebakafa obulwadde.

Ate abatuuze mu zzooni y’e Katogo e Kinawataka mu Kampala, bazudde omulambo gw’omwana omuwala, nga guli mu kiveera, ekirese abatuuze ng’emikono giri ku ttama.

Abatuuze oluvanyuma lw’okulaba omulambo, basobodde okutemya ku Poliisi era amangu ddala omulambo gugiddwawo.

Okunoonyereza kulaze nti omwana Ratifah Namawejje myaka 10 yeeyatiddwa ng’abadde muzukkulu wa Finah Nakintu ali mu gy’obukulu 50.

Wabula amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Asp Luke Owoyesigyire agamba nti okunoonyereza kulaga nti omwana Namawejje ku myaka 10 abadde mukozi mu maka ga Gerald Sematiko omutuuze we Katogo.

Mu maka ga Sematiko, Poliisi ezudde akatimba k’ensiri okuli omusaayi, Bulanketi, ebikopo n’emisokoto gy’enjaga.

Owoyesigyire agamba nti mu kiseera kino Sematiko aliira ku nsiko oluvanyuma lw’okutegeera nti Poliisi emunoonya wabula omuyigo gutandikiddewo.

Omulambo gutwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mulago okwekebejjebwa n’okuzuula engeri gye yattiddwa.