Omusajja abadde mu kaboozi ne muk’omusajja akubye enduulu, okutaasibwa olw’enjuki okumuzingiza n’okumuluma ng’ali mu kaboozi mu nsiko.
Bino bibadde ku kyalo Kwaramba mu katawuni k’e Gokwe mu ggwanga erya Zimbabwe.
Omusajja Jethro Maimba ali mu gy’obukulu 30 yasigidde muk’omusajja Lizzie Maphosa era wakati mu kusinda omukwano mu nsiko, enjuki zibalumbye era omusajja zimulumye wakati mu kubba enduulu nga yenna ali bukunya ssaako n’omukyala.
Wadde abatuuze, basobodde okutuuka okutaakiriza embeera, enjuki zibalemeseza okutuuka okubataasa okutuusa nannyini mukyala Joseph Musariri bw’atuuse.
Omusajja akubye omulanga olwa mukyala we, okwenda, okumutwala mu nsiko, ekityobodde ekitiibwa kye.
Wabula omusiguze, afukamidde wansi ne yeetonda era asuubiza okuwa ente 2 n’okuwaayo akasente, era amangu ddala omusajja akkiriza okumusonyiwa n’enjuki, ne zigenda.
Ate muto w’eyali omukulembeze w’eggwanga erya Algeria Abdelaziz Bouteflika, asindikiddwa mu kkomera okumala emyaka 2 olwa kulemesa nkola y’amateeka.
Mu kkomera, Bouteflika asindikiddwa n’eyali minisita w’amateeka Tayeb Louh n’omusuubuzi Ali Haddad.
Mr Louh asibiddwa emyaka mukaaga (6) ate Mr Haddad emyaka 2.
Bonna basatu (3) baakwatibwa oluvanyuma lwa Pulezidenti Bouteflika okugibwa mu offiisi mu 2019.

Pulezidenti Bouteflika yafa omwezi oguwedde oluvanyuma lw’okufuna ekirwadde ky’okusanyalala.
Abdelaziz Bouteflika yali Pulezidenti okuva nga 27, Ogwokuna, 1999 okutuusa nga 2, Ogwokuna, 2019. Yafa nga 17, September, 2021 e Zeralda, Algeria.
Ate e Eswatini, Poliisi n’amaggye basindikiddwa mu massomero okunyweza ebyokwerinda okutangira abayizi okuddamu okwekalakaasa okubanja enkyukakyuka mu mateeka agafuga ebyokulonda.
Eswatini eyali eyitibwa Swaziland, abayizi mu masomero ga Pulayimale n’abali waggulu, baludde nga bekalakaasa ne bagaana okusoma olw’okubanja enkyukakyuka.
Mu kiseera kino okwekalakaasa kusanikidde eggwanga lyonna, nga bannansi bagamba nti bakooye amateeka agaliwo n’okusingira ddala abavubuka.
Okuva olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri, ebyokwerinda byongedde okunywezebwa mu kibuga Mbabane ne Manzini, okutangira embeera okusajjuka.

Abakulu mu byokwerinda, bagamba nti okusindika Poliisi n’amaggye mu massomero kikoleddwa okutangira effujjo wabula abayizi bagamba nti kikoleddwa ku batisatiisa.
Obukulembeze e Eswatini buli wansi w’obwa Kabaka, wabula abayizi bagamba nti bakooye embeera gye basomeramu, betaaga enkola ya bonna basome, okukendeza ebisale ku massomero, okulwanyisa ebbula ly’emirimu n’okomya okusiba abawakanya obukulembeze.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/293660369270668