Ssenkulu w’ekittavu ky’abakozi ekya NSSF Dr. Richard Byarugaba akawangamudde bw’asabye abakiise ba Palamenti abatuula kakiiko, k’ekikula ky’abantu n’abakozi, obutakola nongoosereza ki kittavu ky’abakozi ku ngeri y’okufuna ensimbi zaabwe.
Byarugaba agamba nti singa bakola etteka, abakozi okufuna ku nsimbi zaabwe ebitundu 20 ku 100 eri abo, abaterese okumala emyaka 10 nga basusiza emyaka 45, ssente zigenda kendeera mu kitavu ky’abakozi.
Mungeri y’emu agamba nti ssente zasigibwa mu bitundu ebyenjawulo, okusobola okuzaala amagoba nga teziriiwo mu kiseera kino.
Byarugaba ng’omusajja omukugu mu byenfuna, era akubye ttooki mw’abo, abesuunga okufuna ebitundu 20 ku 100 ku ssente zaabwe nti ssente ziba ntono nnyo okusobola okukola ku bizibu byabwe.
Okubyogera, abakungu okuva mu NSSF, babadde bayitiddwa mu kakiiko k’ekikula ky’abantu n’abakozi, mu lutuula olubadde ku Serena Hotel mu Kampala, okuwa endowooza yaabwe mu nongoosereza, abakozi zebetaaga ku ssente zaabwe eziri mu kittavu kya bakozi erya NSSF Amendment Bill 2021, omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni lyeyagaanye okusaako omukono.
Ku Serena, ssentebe w’akakiiko Kabahenda Flavia gy’asinzidde, okutangaza kwebyo ebiri mu kutambula nti bandiba nga balina ekigendererwa ekikusike, ekibatwala ebweru wa Palamenti, nga bakola enongoosereza mu bbago erikwata ku kittavu ky’abakozi.
Akakiiko mu kusooka, katuula ku Hoteero Africana mu Kampala, okuteesa ku ngeri gye bagenda okwatamu ensonga y’enongoosereza ate enkya ya leero, mu kusisinkana abavudde mu kittavu ky’abakozi, bagenze ku Serena.
Wabula Ssentebe Kabahenda mu kwanukula ku nsonga ezo, agambye nti ku Palamenti, babadde tebagyaayo ng’akakiiko kwabwe kuliko abakiise ba Palamenti 32, aba NSSF babadde bali 30 ssaako ne bannamawulire nga mu Palamenti, tebalina webayinza kutuula wakati mu kwetangira Covid-19.
Ate Poliisi ku Jinja Road ekutte omusajja Gerald Sematiko, agambibwa okusobya ku mwana myaka 10 oluvanyuma namutta e Kinawataka mu Divizoni y’e Nakawa mu Kampala.
Omwana Ratifah Namawejje eyattiddwa olunnaku olw’eggulo, yabadde abeera ne jjajaawe Finah Nakintu ali mu gy’obukulu 50.
Wabula Sematiko nga naye mutuuze mu zzooni y’e Katoogo e Kinawataka, abadde mukozi we jjajja w’omwana eyattiddwa.
Oluvanyuma lw’okutta omwana, omulambo yagutadde mu kiveera, nagusuula mwala, era gw’azuuliddwa abatuuze kwe kutemya ku Poliisi.
Luke Owoyesiyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, Sematiko bamukwatidde Kirinya-Bweyogerere, e Kira mu disitulikiti y’e Wakiso.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/293660369270668